Sunday, September 13, 2020

YIGA OLUGANDA: Empisa, emizizo n'obulombolombo bwa Buganda obwazimbibwa ku ndwadde

YIGA OLUGANDA: Empisa, emizizo n'obulombolombo bwa Buganda obwazimbibwa ku ndwadde

BYA  SAM DICK KASOLO    

Wano mu Buganda, egimu ku mizizo, empisa n'obulombolombo byava ku ndwadde ezizze zitulumba emyaka n'emyaka olwo abaatusooka ne bassaawo emizizo, n'obulombolombo era ne bufuukira ddala empisa mu Buganda.                          

ABAFUMBO OBUTEEGATTA NGA BALINA OMWANA ALWADDE OLUKUSENSE 

Okugema kusinga okuwonya kubanga omuntu ne bw'awona oluusi endwadde emulekako enkovu ezitasangika. Mu kaweefube w'okuziyiza abantu baakolanga ebintu ebitali bimu nga baddira enkejje eri ku luti ne bagiwanika ku luti w'oyingirira ggwe omugenyi azze bw'ogiraba oba okuwulira ng'ewunya ng'ojjukira okwetangira olukusense. 

Kuno baagattalko n'akalombolombo akalala nti amaka bwe mubaamu olukusense, abafumbo tebatabagana mu bikolwa bya bufumbo, maama amaanyi ge asobole okugamalira ku baana abakusensezza nga ne mu kiro asituka okubawa ebyokunywa okuweweeza okubugujja.  Ng'oggyeeko eky'okulabirira abato, n'abakulu olukusense lubakwata ate kigambibwa nti bo lubayisa bubi nnyo n'okusinga abato, kati okulwewala nga lulumbye amaka bwe butatabagana mu byabufumbo buli omu n'asula wawe. 

Baawanikanga n'akatanga ku mulyango omunene oguyingira era kutangira ndwadde. Akatanga kamera ku kaddo akalanda nga ekiryo ku ttale nga kaba keetooloovu nga akapiira era nga ka kiragala. Baagambanga nti omuntu eyaleetanga endwadde n'amalogo ng'akatanga , kazitangira, okuyingira mu nju. 

LINDA EKITUNDU EKYOKUBIRI

OWOOLUKUSENSE  OBUTASALA  MASAhhANZIRA 

Omwana oba omuntu yenna bwe yakusensanga, nga tebamukkiriza kusala , masahhanzira, nga kye bagenderera kwe kumwewaza okuva awaka okukyalakyala kubanga yayinzanga okusiiga abalala. Yabanga ku bwerende leero obuyitbwa ‘tonsemberera' 

Baazuula nti enkejje, bw'ozikalirira, n'ozifumba ng'otaddemu omuzigo omuganda (kyokka tosiika) ziyamba okujjanjaba amabwa g'omunda agaleetebwa olukusnse nalwo ne lufuluma ne luyiwa. 

LINDA EKITUNDU EKYOKUSATU

OBUTANYIZA AWALI ABALYA 

Omwana ava buto ng'atendekebwa obutakuba bAntu malusu. Atendekebwa okukolola n'okwasimula ng'akutte ku mumwa, obutakwasa minyira ngalo ERA OBUTANYIRIZA AWALI ABALYA. SSeesEeba eyagoya ensi mu myaka gya 1918—1919. Yanyweza nnyo empisa zino.  

Kiteeberezebwa nti abantu ssennyiga ono be yatta basinga abaafiira mu Ssematalo owookubiri. Olujjuliro mu Buganda lwasembezanga abantu bonna abali awaka kale okwewaza okusiiga bano ng'obakuba eminyira kye bava bakwewaza okunyiriza ku lujjuliro. Mpozzi era n'okwenyinyaza banno n'obatamya emmere. 

ENGERI GYE BAJJANJABANGAMU SSEESEEBA 

Sseeseeba bwe yakwatanga omuntu, nga baddira, olumbugu, ebibajjo bya kalittunsi, eby'emiyembe, ebikoola by'amapeera, eby'akayuukiyuuki Akaganda, omululuuza n'ebbombo n'ebintu ebirala nga , nga babifumba , mu  ssefuluya nga byesera oyo akwatiddwa, sseeseeba baamwotezanga nga baddira ebintu bino ebyakaggyibwa ku Kyoto naye ne  bamubikka mu bulangiti, n'anuusa omukka oguva mu sseppiki y'eddagala lino okumala eddakiika nga 30 n'oluvannyuma n'anywa ku ddagala lino baaakikolanga okumala ennaku nga nnya. 

KABAKA OBUTAZIIKA 

Ezimu ku ndwadde nnamuzisa ezizze zirumba ebitundu okugeza kawumpuli, nga  zitwaliramu n'abafuzi ab'ennono. Kuno Buganda kwe yaggya empisa eya Kabaka obutaziika nga bamwewaza endwadde zino nnamuzisa eziyinza n'okukwatira ku mulambo. Ekirala tebaayagala kulaba Kabaka waabwe ng'aweddemu essuubi. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts