Saturday, September 19, 2020

Mzee Zedde: Yeewuunya ejjoogo ly'abasse omwana ne baleeta omutwe ku Palamenti!

Mzee Zedde: Yeewuunya ejjoogo ly'abasse omwana ne baleeta omutwe ku Palamenti!




Baakitegedde amaze kutta mwana nti gwe baasenza, n'amannya yali yagabalimba nga mu kifo kya Josephat, yabawaamu lya Joseph! Eyabagamba nti talina bazadde, baagenze okulaba nga Celestino Katabuzire gy'ali amoga era ng'annyonnyola n'engeri omulenzi gye yamwewaggulako n'ababulako era baamwekangidde ku ttivvi ng'ali n'omutwe gw'omwana ku Palamenti!

Ennaku eruma Zedde bulijjo ebadde ku kusaddaaka baana, naye ejjoogo bwe liba lituuse n'okutambuza emitwe gy'abaana be basaddaase okugiggya mu nsiko gye babasanjagidde okugireeta ku Palamenti, awo ennaku etuuse okuttira Zedde mu ka mwasajjute ke!

Mzee Zedde akaluubirirwa okukkiriza nti Nuwashaba talina be yakolaganye nabo mu kutta Faith! Bazadde b'omwana bwe balumiriza nti waliwo emmotoka eyamukima awaka era oluvannyuma n'emuzza nga tebategedde ddiiru ze yaliko, kyongera okusonga ku kkobaane ly'okutta omwana.

Eyatutte omwana ku ttale gye yamuttidde, bw'aba yafunye obudde obumenya akabookisi mw'abadde atereka ssente, n'apanga n'engoye mu nsawo n'avaayo nazo, byongera okulaga nti olukwe lwabadde luwanvu.

Ekyewuunyisa abaawaka tebaamulabye na nsawo ng'agenda ku ttale n'omwana era we basinziira okuteebereza nti ab'emmotoka b'abadde akukuta nabo bandiba nga baabadde bamulinze mu kkubo awo era nga be yasoose n'okutwalira ensawo n'alyoka ayita omwana okumutwala ku nsiko e Kijjabwemi mu Masaka gye baamuttidde.

Nuwashaba bw'aba abadde n'essimu gy'akukulira okumala emyezi esatu era nga teri wa waka yali yeetantadde kugikwatako, nakyo kyongera okusonga ku lukwe oluwanvu oluludde nga lulukibwa.

Bwe kituuka ku ngeri Nuwashaba gye yatambuzza omutwe gw'omwana okugutuusa ku Palamenti ng'ataddeko n'ekigambo kya "Kino kirabo kya Sipiika" ebibuuzo ne byeyongera.

Ennaku eva mu kuluma Zedde n'emusiiyiika busiiyiisi, ng'akitegedde nti Nuwashaba yasuze n'omutwe mu Makindye Ssaabagabo n'alyoka agukeeza ku Palamenti.

Nuwashaba yafunye obudde obugunaaza n'aguteeka mu kaveera n'agusabika bulungi era n'afuna ne bbokisi, n'agutambuza okuva e Masaka okutuuka mu Kampala mu ngeri etategeerekeka, era n'agutuusa ne ku Palamenti nga teri wabyakwerinda amukutte, tekikoma ku kukuba bituli mu babyakwerinda, wabula kiraga ennaku Zedde n'eggwanga lyonna mwe batubidde.

Okutwala omutwe guno ku Palamenti bwe kiba nga kyakoleddwa lwa byabufuzi, kyongera okweraliikiriza Zedde n'atuuka n'okukangula ku ddoboozi eri abali emabega w'ebikolwa ebyo okubikomya, baleme kuzannyira ku bulamu bw'abantu mu buzannyo bw'ebyobufuzi.

Kyokka bwe buba butemu obwetobeseemu okweraguza, abeebyokwerinda balina okuggyayo n'agoomu buto okuziyiza ebikolwa nga bino.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts