Omusango guno guli mu maaso g'omulamuzi Ponsiano Odwori owa kkooti y'e Nakawa nga ku Lwokuna lwe yabadde alina okuwa ensala ye ku kwemulugunya okwateekebwayo Luyooza ng'awakanya Kaliisa ne banne okumuwawaabira.
Agamba nti bakikola mu bukyamu era tebalina buyinza bumuwawaabira musango guno. Omulamuzi Odwori yategeezeza nti tannawandiika nsala ya musango guno n'abalagira bakomewo nga September 29, 2020.
Yayongezzaayo n'ekiragiro kye yayisa ekiyimiriza Luyooza ne Maj. Richard Mpagire okwenyigira mu bukulembeze bw'ekibiina kino okutuusa ng'asaze omusango guno.
Mu kkooti Kaliisa ne banne tebaabaddewo wabula bakiikiriddwa looya waabwe, Samson Kyomukama.