Tuesday, September 22, 2020

Nambooze yeekokkodde abamwekukuutirizaako mu kiseera ky'okulonda

Nambooze yeekokkodde abamwekukuutirizaako mu kiseera ky'okulonda

Omubaka wa munisipaali y'e Mukono, Betty Nambooze Bakireke asisinkanye abavuddeyo okuvuganya ku bifo eby'enjawulo mu kibuga ky'e Mukono nga bayitira ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP).

Bano basisinkanye ku woofiisi ya NUP esangibwa ku kyalo Kavule mu Mukono. Nambooze abategeezezza nga ye bw'ali omwetegefu okuwagira oyo yenna agenda okuweebwa kkaadi ya NUP mu mazima era agenda kukola ekisoboka okulaba nga bawangula.

Wabula, agambye nti ku mulundi guno si mwetegefu kugumiikiriza bakkansala n'abakulembeze abasigadde abazzenga bamwekukuutirizaako mu kunoonya akalulu ate bw'amala okubayamba okuwangula nga bakola emitwe eminene n'okumwogerako nga bw'abateeka mu nkwawa.

Abasabye okuvaayo kati boogere nga bwe batali beetegefu kutambulira mu nkwawa ze n'okulaga wa we bayimiridde ku bikolwa ebinyigiriza abantu.

Wabula bino we byabeereddewo ng'ebyava mu kusunsula abeesimbyewo ku bifo eby'enjawulo ku kkaadi ya NUP bikyagaanye okulangirirwa ekyalese nga n'abamu ku bawagizi beekutuddemu.

Ku mbeera eno, Nambooze yagambye nti akimanyi nga bwe waliwo abantu ne mu NUP abakyalina enkola ng'ez'eri gye baava nga n'olweyo bakyayinza okwagala okulangirira abantu abatalina ttutumu olw'ebigendererwa byabwe bbo ng'abantu.

N'abawagizi baavuddeyo ne batandika okwogera ebisongovu nga bagamba nti waliwo be bategenda kugumiikiriza.

Saida Nassali omu ku bawagizi ba NUP yagambye nti waliwo abantu abaabawalanya ne batuuka n'okubagoba mu kibiina kya DP kyokka ate baabadde bali awo nga ne mu NUP gye baddukidde bano babawondedde batandise okwagala okuleeta emivuyo gye gimu.

"Olwaleero tuli wano tulinze okulangirira abantu abaasunsuddwa na buli kati bikyagaanye, tuwulira nti ate baagenze Kamwokya kubyekenneenya n'okukubibwako sitampu, bye biki ebyo, ab'e Kamwokya si be bagenda okutusalirawo. Bagamba mbu buli ali emabega wa Nambooze bagenda kumulwanyisa, ebyo tetugenda kubikkiriza!," Nassali bwe yannyonnyodde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts