Poliisi yakutte omutabuzi w'eddagala ly'ekinnansi mu Kampala, Ssenga Meran Namatovu oluvannyuma lw'essimu y'omusajja Josephat Nuwashaba 19, okumulonkoma.
Abaserikale baazudde amasimu Namatovu g'abadde awaanyisiganya ne Nuwashaba gwe baakutte n'omutwe gw'omwana, Faith Kyamagero 5, ku Palamenti ng'aguzinze ng'ekirabo kye yabadde atwalidde Sipiika Rebecca Kadaga.
"Ne ku Ssande lwe batta omwana essimu eraga nga beekubira amasimu mangi ag'okumukumu n'olunaku olwaddirira bwe batyo." Omu ku baserikale abanoonyereza ku musango guno bwe yategeezezza.
Ensonda zaagambye nti, Nuwashaba yabagambye nti, abadde amaze emyezi esatu ng'ayogerezeganya ne Namatovu era mu kwogerezeganya kuno, mwe yafunira ddiiru y'okusalako omwana omutwe.
Kitaawe wa Kyamagero Pasita Charles Ssenyonga ne nnyina Gloria Katunguka bagamba nti, Nuwashaba yasooka n'avaako awaka okumala ebbanga kyokka oluvannyuma n'addayo, teyawezzezzaawo mwezi n'atta omwana waabwe.
Kati bambega abali mu kunoonyereza ku musango guno bagamba mu bbanga eryo, yali akutula ddiiru ya kusalako mwana mutwe. Ssente entuufu ze yakolera omulimu guno, tezinnategerekeka kyokka kigambibwa nti, yasuubizibwa ssente eziwera.
Nuwashaba yasoose kutegeeza baserikale nti, eyamutuma yamuwa 80,000/- n'amugamba omutwe agutwale mu Ndeeba ku kibanda ky'embaawo awali n'edduuka lya sipeeya w'emmotoka kyokka Ssenyonga yategeezezza nti, zino yazibba waka lwe yabula n'omwana.
Yagambye nti, ennamba y'essimu ya Namatovu yagiggya mu mpapula z'amawulire Namatovu mw'alangira eddagala lye ery'ekinnansi. Ono ye nnannyini Da Meran Herbal Group ku Lubaga Road ku kizimbe kya Kyengo Auto Parts.
Bba, Will Kisegerwa amanyiddwa nga Kojja Kitonsa yagambye nti, zino mpalana za mirimu kwagala kulemesa mukazi we. Yagambye nti, omuntu yenna asobola okuba n'ennamba ya mukazi we kubanga agiranga ku leediyo, TV, empapula z'amawulire ne ku ‘social media'.
Omulambo gwa Kyamagero, eggulo gwawezezza wiiki emu nga tegunnaziikibwa oluvannyuma lw'ebyava mu kukebera endagabutonde okulwawo okufuluma.
Akulira abasawo ba poliisi, Dr. Moses Byaruhanga yagambye nti, tebannaguwayo n'agattako nti, bajja kuguwaayo nga bamalirizza bye balina okukola.
Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, omusango guno ebisinga obungi bye beetaaga baabifunye n'agamba nti, ku Lwokutaano, bazzizzaayo omusibe awagambibwa nti, gye yattira Kyamagero n'abaako by'abannyonnyola.
Kyokka mu nkola etali ya bulijjo, omusibe teyaggyiddwa mu mmotoka abaserikale ne bategeeza nti, omusango guno guliko obunkenke bwa maanyi ng'omuntu yenna yabadde asobola okumukola ekikyamu.
Source