Tuesday, September 22, 2020

Speaker asisinkanye abasuubuzi ne bamuloopera enkuyanja y'ebizibu

Speaker asisinkanye abasuubuzi ne bamuloopera enkuyanja y'ebizibu

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza nga bamusiiga nsimbi aba wano Bannayuganda nga balowooza nti abeeru bokka beebalina obusoobozi okutandikawo amakolero.   

"Bw'okwata ettaka obw'aguuga n'oliwa omuzungu oba omweru yenna n'omusonyiwa n'omusolo okumala emyaka kkuumi kubanga musiga nsimbi kyokka n'ogaana okuyambako munnayuganda enzaalwa eya wano  obwo tebuba bwenkanya eri munnansi " Bwatyo Sipiika Kadaga bwaategeezezza.

Bino Kadaga abyogedde asisinkanye abasuubuzi abakola mu  ngoye z'ejjoola leero  okuva mu mawanga nga China, Hong Kong  n'amalala ne bamala ne batungamu engoye ebika eby'enjawulo omuli gomesi z'abakyala, obusuuti bw'abawala, obugoye bw'abaana ne kalonda omulala ate ne bamala ne bazisuubuza amawanga agatwettolodde.

Nga  bano baddukira mu ofiisi ye gye buvuddeko ne bamusindira ennaku abayambe okukoma ku URA,  eyali egenda okutandika okubasasuza omusolo ku ngoye eziyingira eggwanga ez'ejjoola okutandika nga July,01,2020 okusinziira ku tteeka epya.

Gye buvuddeko palamenti yayisa etteeka erigamba nti omuntu yenna ayingiza engoye ez'ejjoola ezitali nnungi mu ggwanga balina okusasula omusolo mu kiro ng'olugoye olwo ddoola ttaano "5"  ekitegezza nti omuntu abadde asasula omusolo ku konteyina eyingira ku bukadde 100, yali alina kutandika kusasula obukadde 800, ekintu ekigoba abasuubuzi mu bizinensi so nga nayo ebadde esasula omusolo.

Kadaga agambye nti etteeka lino okuyita kirabika teryaweebwa budde bumala kulinoonyerezaako  ku lyali lirumira ebisusse  toyinza kugya muntu ku musasuza mu mita ate n'odda mu kiro gattako okusasuza munnayuganda mu ddoola.

"Nakoze okunoonyereza okumala nti kampuni za wano zetwagala okuyambako okukulaakulana nga "Lytle" tebalina busobozi bukola materiyo asinga ono ayogerwako owa "Jiini, polisita, satiini" n'ebirala era nze njagala amaanyi URA egateeka ku bantu abayingiza engoye za Cotton,  kubanga ye abawano bamusoboola okumukola wabula bye batasobola babiveeko" bwatyo Kadaga bagumizza abasuubuzi. 

Bano abasanze mu kisaawe kya "Nakivubo War Memorial Stadium" ekizimbibwa omugagga Hamis Kiggundu era nga ebizimbe bye bino ebisukka 13, ebikyettolodde byonna bisingako basuubuzi ba  byalani abatunga engoye okuva mu jjoola.

Kadaga asuubiza okutuukirira omukulembeze w'e ggwanga ne minisitule y'ebye nsimbi abannyonyole ekituufu ekiri ku tteeka lino kiyambe obutanyigiriza bannayuganda abakava mu kiseera kya Corona kino buli muntu gwekyakosezza.

Abasuubuzi ab'egattira mu kibiina kyabwe ekya "United Tailors Group and Manufactures Association" basiimye Kadaga okukozesa obulungi ofiisi ye n'asobola n'okuvaayo n'atuuka ku muntu wa wansi okumanya ekimuluma.

Bategezezza sipiika nti ekya URA okutandika okubagyako omusolo mu ddoola ate ng'ebapiima mu kiro okutandika nga October, 01,2020.  Kigenda kubeera sikyabwenkanya kubanga baatumya dda emmaali yaabwe okuva e China naye baabadde tebanagifuna olwa Corona eyasannyalaza eggwanga lyonna ng'ate ne China babadde tebakyakola ne basaaba abayambe abagambire ku Pulezidenti abayongereyo ebbanga lya myaka kkuumi bwebetegekeera omusolo omupya.

Komisona wa URA avunaanyizibwa ku by'obusuubuzi mu ggwanga "Haji Hassan Kigozi agambye nti okutandika okusasuza abasuubuzi bano mu ddoola bo bateeka tteeka eryayisibwa palamenti mu nkola okufuba okulaba nga bataasa amakolero aga wano ssaako okwongera amaanyi mu balimi ba ppamba avaamu engoye ezikolebwa wano.

Agambye nti bo mu kiseera kino balinda okulungamizibwa okuva eri minisitule y'ebye nsimbi gattako palamenti ku kiki ekiddako nga October,01,2020. 

 Ye omubaka wa Kampala Central Muhammed Nsereko eyatwala okwemulugunya kw'abasuubuzi bano mu palamenti yasabye gavumenti eyimirize mbagirawo omusolo guno kubanga gunyigiriza bannayuganda okutuusa nga waliwo kampuni enatulaga nti esobola okukola engoye ezogerwako nga bagyeko eza "Cotton" ezimanyiddwa wano nti Lytle ezikola  

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts