OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by'emizannyo olw'ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe kya "Nakivubo War Memorial Stadium" kuzzeemu buto okutojkjera era mu myezi munaana kigenda kubeera kituuse ku mutendera gw'okukiteekamu entebe.
"Wadde ng'ekiseera kino buli muntu ssente azinoonyeza mu kiwaato, naye nze tekiyinza kungaana kugenda mu maaso n'okuzimba ekisaawe nga bweneyama era ku luno omulimu buli omu abadde alimu ttoma agulaba emisinde kweguddukira era wakati w'emyezi omunana n'omwaka gumu kigenda kubeera kituuse ku mutendera gwakutekamu entebe n'amataala nkikwase gavumenti" Bwatyo Ham bwategeezezza.
Bino Ham abitegezezza Sipiika wa palamenti Rebeeca Kadaga abadde agenze okukyalirako abasuubuzi abakoleera ku bizimbe bye ebiri e Nakivubo olwaleero Ham gy'akozeserezza oimukisa guno
okulaga Sipiika Kadaga omulimu bwe gutambula kubanga bangi babadde bamutuukirira ne bamugamba nti ekisaawe Ham yakizimbamu dda amaduuka ekintu ekitali kituufu
Sipiika atunnulidde omulimu ne yewunya era ne yebaza Ham okubeera musiga nsimbi omuto bwati neeyeyimba mu mulimu gw'okukulaakulanya eggwanga lye.
Ham agambye nti kino ekisaawe nga kiwedde kye kigenda kubeera ekisinga okuba eky'omulembe mu "East Africa" era nga kigenda kubeera kibikke nga kituuza abantu 35,000. Nga mulimu buli kimu .
Ayongeddeko nti ekisaawe kino wadde aba ROKO bakizimbira ssente nnyingi obuwumbi 188, naye yalina okulaba ng'omulimu guno gukolebwa kkampuni eyabakugu kubanga kigenda kusigala kyogerwako abaana n'abazzukulu.
Ebitundu bya paviiriyoni byombi bimaze okusituka obulungi nga kati bazimba mwaliiro gwakusattu
Mu October/2018 minisita w'eby'enjigiriza n'emizannyo Janet Museveni yawalirizibwa naye okukyalako e Nakivubo okulaba omulimu ogw'okuzimba ekisaawe ky'e Nakivubo we gwali gutusse era nazuula nti abali bamuwa amawulire ku bikwata ku kuzimba ekisaawe kino bali bamuwa mafu.
Yagamba nti " Bulijjo nfuna amawulire nti omugagga Hajji Hamis Kiggundu [Ham] ekisaawe yakizimbamu era kyekimpalirizza okujja wano ndabire ddala oba abantu byeboogera bituufu wabula okusinziira ku kyendabye wano embeera ekisaawe gye kirimu ne pulaani endagiddwa aba ROKO abaakwasibwa omulimu gw'okukola ekisaawe ndi musanyufu kubanga buli kimu kigenda bulungi era nnina essuubi nti ekisaawe kijja kuggwa bulungi bannayuganda batandike okukikozesa" Bwatyo Janet Museveni bweyategeeza.
Era mu bbanga lyayita tono Ham n'ategeeza nga ssente zonna ez'okukola omulimu gw'okuzimba ekisaawe kino bwe yali azifunye obukadde bwa ddoola 50, n'obuwumbi 188 n'obukadde 660 era nazikwasa aba minisitule y'e by'emizannyo nga mu bbanga lya mwaka gumu n'ekitundu gwali gulina okuba nga gukwasibwa abakikulira olwo bannayuganda batandiike okukyeyagaliramu.
Ham agamba nti omulimu gw'okuzimba ekisaawe kino gweyakwasa ROKO, kati gususse ne mu bitundu 75 ku buli 100 kuba wansi okuzimba omusingi omugumu kye kyali ekizibu kubanga kizimbibwa mu lutobaazi.
Ekisaawe kino kyakutuza abantu 35,000., pakingi ya mmotoka 9600, emizannyo gy'omunda okuli "Cricket, Net Ball, Valley Ball, Tanis, GYM n'emirala mingi.
Ekisaawe kino okutandiika okuzimbibwa kya menyebwa mu February 2017. Wadde nga kyasooka okuzimbibwa 1926 ne kiddamu okukulaakulanyizibwa mu 1954 nga bakizimba ng'ekijjukizo ky'abalwanyi abaava mu ssematalo