Tuesday, October 20, 2020

Abasuubuzi b'e Wandegeya beesimbye mu ssentebe

Abasuubuzi b'e Wandegeya beesimbye mu ssentebe

ABASUUBUZI mu katale k'e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala okuwandiika abantu okuva mu Katanga ne Nakulabye bamusembe nti be basuubuzi abakolera mu katale kano.

"Twakoowa dda obukulembeze bwa Gitta. Afubye okulaba ng'agoba abasuubuzi abakadde asigaze abapya abamuwagira. Kati ayiiya ngeri gy'ayingizaawo emikono gy'abantu abapya alage minisita wa Kampala Betty Amongi nti be bamuwagira," Zaina Nalubega, akolera mu katale kano, bwe yagambye, n'agattako nti nga tannagenda, baagala Gitta alage embalirira ya ssente ebitundu 15 ku buli 100 ezikomawo okuva mu KCCA buli mwezi.

Mayi ‘Small' Nabukenya, ayongerako nti Gitta abagobaganya olw'okwogera ku mbeera embi gye bakoleramu, omuli okugabana kaabuyonjo n'abasajja. "Okufuna amasannyalaze mu dduuka nnasooka kusasula mu ofiisi ya Gitta 200,000/- eza mmita. Buli yuniti y'amasannyalaze batusasuza wakati wa 1,000/- ne 1,500/-, bw'olemererwa okusasula mu budde nga bagasalako.

Agattako nti n'amazzi tabagaganyulwamu kuba baagabagobako. "Okukukwatira ku mazzi gano ng'ogakozesa bakusasuza engassi ya 100,000/-. Tuli bakyala naye tusiiba tetunaabye kyokka nga tulina ebinaabiro munda wabula tebatukkiriza mazzi era n'agokufumba tugagula bweru w'akatale ku 200/- oba 300/- buli kidomola.

Mwanje Mutesasira nga ye ssentebe w'ekitundu omuli akatale, agamba nti yaleeta Gitta ku lukiiko lwe nga ssentebe w'akatale kano eyasookera ddala. "Namuwa ekifo ky'omuwandiisi kyokka yeddizza ekifo kyange kubanga nagaana okukola ebinyigiriza abasuubuzi . Olukiiko lwe twatandika nalwo kwasigalako abantu basatu bokka, abalala balemesebwa," Muteesasira bw'annyonnyola.

Isa Ssekimpi agamba nti Pulezidenti museveni yabagamba nti akatale ka bamufunampola kyokka Gitta ne banne bababinika ssente ku buli kintu. "Akatale kaazimbibwa ku mutindo gw'ensi yonna, kyokka baakakyusa dda pulaani. Amaduuka baagatema ne bagoba abasuubuzi ne bateekamu edduuka limu eddene lye baawa omugagga," bw'agamba, n'ayongerako nti omusuubuzi avaayo okwerwanako n'okwogera ku nsonga ezibanyigiriza bamugoba.

GITTA ABAANUKUDDE                                                                                                                                                                                                     Bye boogera simanyi gye babiggya kubanga pulogulaamu z'okulonda abakulembeze tezinnaba, era tewali nsonga lwaki nnoonya emikono. Aboogera batya kubanga bulijjo ntuuza enkiiko nga mulimu abaamawulire ate ng'abampagira basuubuzi. Ebitundu 8 ku buli 100 ze zikomawo okuva mu KCCA okuddukkanya emirimu gy'akatale, era tezimala .

Kaabuyonjo zonna zikola, okuggyako ezimu baziggalawo ng'abaloongosa bannyuse nga n'abasuubuzi basigadde batono, kye bava bazigabana akawungeezi. Amasannyalaze ge tukozesa ga bbeeyi. UMEME yatuwa ga ‘3-phase' agakozesebwa mu makolero, era ebbeeyi yaago ekyuka. Ensimbi tuzisasula okusinzira ku bbeeyi gye batuleetedde.

Amazzi nago gali ku buseere kubanga ssente ze tugasasulirako ekitongole kigakubisaamu kubanga tuli ku layini ennene.

 


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts