BYA WASSWA B. SSENTONGO
ABATUUZE ku kyalo Kasalirwe mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso bakutte omuvubuka n'enkoko enzibe n'amatooke ne bamukuba emiggo era abakulembeze be bamutaasizza ne bamutwala ku poliisi y'e Matugga.
Jimmy Mbabaali 27, ow'oku kyalo Kasalirwe, yakubiddwa mizibu nga bamukutte n'enkoko za Sophie Nampeera ng'era we baamukwatidde yabadde amaze okusalako emu ng'ateekateeka kufumba kyamisana.
Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw'alaajana ng'agamba nga bw'atali mubbi ng'enkoko baagimuwadde buwi. Nampeera yategeezezza ng'ababbi bwe bayitiridde okumubbira enkoko nga guno mulundi gwa mukaaga nga bajja ne bamenya ennyumba mw'azirundira ne bazibba.
Kkansala w'ekitundu kino, Dan Wasswa asabye abavubuka okukola okusinga okwenyigira mu bubbi.