Friday, October 23, 2020

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ku kutumbula eby'obulambuzi mu nsozi z'e Bugisu

Bya FAISAL KIZZA

Abatuuze b'e Mbale mu Bugisu basabye minisita w'ebyobulambuzi, Kiwanda Ssuubi okubayamba okutumbula eby'obulambuzi byabwe ebiri mu nsozi z'e Bugisu.

Muno mulimu ekkuumiro ly'ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by'e Sipi, olusozi Masaba n'ebirala bingi ebyetaaga okutumbula omuli n'enguudo ezigenda mu bitundu bino ezitayitikamu.

[image_library_tag 308b9d1c-93ad-47e2-8144-62b590a62bc5 720x405 alt="Minisita Kiwanda Ssuubi (wakati), Lydia Wanyoto (ku ddyo) ne Muhamood Masaba Mutenyo ssentebe wa NRM e Mbale nga basala kkeeki." width="720" height="405" ]
Minisita Kiwanda Ssuubi (wakati), Lydia Wanyoto (ku ddyo) ne Muhamood Masaba Mutenyo ssentebe wa NRM e Mbale nga basala kkeeki.

Minisita Kiwanda abazzizzaamu essuubi n'abategeeza nti wadde entegeka eno ekeereye naye gavumenti yamala dda okukola enteekateeka y'okukulaakulanya eby'obulambuzi byonna gye biri mu ggwanga era ke kaseera okubyongera amaanyi.

Bino Kiwanda yabyogeredde ku mukolo gw'okukwasa omukyala owa Mbale City, Lydia Wanyoto bendera mu butongole era n'asaba ab'e Bugisu okwongera okuwagira NRM ne pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2021.  

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts