WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie Gombya. Ono aliko ekifo ky'eby'obufuzi kye yeegwanyiza mu Kampala era nga kirabika embeera emuzitooweredde nga kati buli munnaddiini amusala mu maaso amusaba amusabireko.
Mwana muwala ono manya Muky. Gombya twamuguddeko ku mukolo ogumu ng'aliko abasumba baafunzizza ng'ayagala bamusabireko ndowooza asobole okufuna ssente z'okukubisa ebipande zaagamba nti zikyamwekubya mpi.
Owoolugambo waffe atugambye nti Gombya yabasabye n'okumuwa omukisa agende alye ku ssente z'obwa kansala manya asobole okuyitamu okukiikirira n'okuweereza Bannakampala.
Abaabaddewo baawuliddwa nga beebuuza nti engeri bba Sam Gombya gyaludde mu by'obufuzi talina ssente z'ayinza kuteeka mu mukyala we n'alema kutambula ng'akuba amavvi oba yabadde ku bubadi bwe ng'abayimbi bwe batera okukola nga baliko kye banoonya.