OMUSAJJA atutte mukazi we ku poliisi y'e Maganjo ng'amulanga kumugabira mwana ate n'amala n'ámuwa omusajja omulala.
Jafali Mwogezi y'atutte muganzi we Shamim Auma 24 ku poliisi y'e Maganjo ng'amulanga kumusiba mwana ate n'amala n'amugabira omusajja omulala ayitibwa Sirajje Nsereko.
Bano twabasanze ku poliisi y'e Maganjo Jafali n'ategeeza nga omukazi ono yamusisinkana era beegatta naye emirundi ebiri mu mwezi gwa May w'omwaka oguwedde era abadde asuubira omwana kubeera wa myezi musanvu kyokka asanze wa myezi esatu ate ng'azze amulimbalimba era n'ókumulabako lubadde lutalo.
Ono era agambye nti Auma yatuuka n'ókubika ab'enganda ze nga tayagala alabe ku mwana we.
Ye jjaja w'ómwana Nuliat Nabbale ategeezezza nti omuwala abadde abuuzabuuza era nga naye omwana agambye nti ssi waabwe.
Wabula ye Auma agaanye okubako ne ky'ayogera ku nsonga eno, bakira awoza kimu nti, 'ka nzireyo ku poliisi'.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirano Luke Owoyesigyire ategeezezza nga bwe bagenda okulaba nga baggyibwako omusaayi okuzuula ani taata w'ómwana omutuufu.