Kino kiddiridde bakansala abaayiseemu okukwatira ekibiina kya NUP bbendera mu munisipaali ya Makindye Ssabagabo okusibira David Sserukenya eyakwasiddwa kaadi ya NUP ekikookolo nga bagamba tebayinza kumuwagira olw'obutaba na maanyi gasobola kuwangulira kibiina kyabwe kalulu.
Bakansala ba NUP bano, baasinzidde mu lukiiko lwabwe olwayitiddwa ssentebe wa NUP mu Munisipaali ya Makindye Ssabagabo, Kulabako Mutebi Kasimu, okusalawo ku muntu gwe bagenda okuwagira ku kifo ky'omubaka wa Makindye Ssabagabo mu kalulu ka 2021.
Wakati mu bukambwe bakansala baakukkulumidde abakulu ekibiina kya NUP olw'obutaba na mugongo mu nzirukanya y'emirimo gyabwe ne bakkaanya okuwa David Sserukenya ku kifo ky'omubaka wa Makindye Ssabagabo nga bagamba nti bo baasangiddwa n'omubaka waabwe Ssajjalyabene ababeereddewo mu ntalo zonna.
Bakansala baatadde Kulabako ku nninga abannyonnyole lwaki Ssajjalyabene teyaweereddwa kaadi kyokka nga naye talina nsonga gy'abawa era okukkakkana nga bamulemesezza okugenda mu maaso n'olukiiko ne bamulagira asooke aleete Ssajjalyabe yennyini abannyonnyole ebyatuukawo okumumma kaadi.
Waayise akaseera omubaka Ssajjalyabene n'atuuka okukkakkanya embeera era nga wano era bakansala tebakkirizza Kulabako kubaako ky'ayogera era ne babuuza Ssajjalyabene ensonga lwaki tayagala kuddamu kwesimbawo olw'okuba teyaweereddwa kaadi ya NUP.
Ssajjalyabene, yasoose kwegayirira bawagizi be bakkirize kulabako agende mu maaso n'olukiiko lweyayise kyokka ne beerema ne bamulagira asooke alangirire nti akkirizza okuddamu okuvuganya ku bwannamunigina mu kalulu akajja.
Ono yalabye abantu beeyongera kutabuka n'alangirira wakati mu bulumi nga bw'akkirizza okuvuganya ku bwannamunigina mu kalulu akajja wadde ng'asigadde akyali wa NUP era ne yeerayirira nga bw'agenda okukola kyonna okunoonyeza Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu akalulu k'Obwapulezidenti.
Ssajjalyabene yabalabudde bannakibiina kya NUP okwewala okukola entalo ku bakulu munda mu kibiina olw'obumulumulu obwabaddewo ku kugaba kaadi ku bifo eby'enjawulo n'ategeeza nti ekibiina kikyali kito nnyo ng'ebintu ebimu bayiga biyige.
Oluvannyuma lwa Ssajjalyabene okulangirira okuvuganya ku bwannamunigina, Kulabako Mutebi yakulembeddemu bannakibiina mu kaweefube w'okusondera Ssajjalyabene ssente za kkampeyini nga bagamba kino bakikoze okulaga amaanyi g'abantu.
Bano baamusondedde 4,170,000 ne bawera okukola kyonna okulabanga Ssajjalyabene awangula akalulu kano nga bagamba ku nsonga ya Ssajjalyabene tebagenda kudda ku bya kibiina.
Ssajjalyabene yasiimye abawagizi olw'okumuteekamu obwesigwe ne mu kiseera ng'ekibiina kimusudde ne yeeyama okusigala nga aweereza abantu bonna awatali kusosola.
Source