Monday, October 26, 2020

Bamukutte mu bubbi ne yeekaza, maama ampa buli kimu siraba lwaki nziba

EYATEEZE omusaabaze ng'ava mu ttakisi n'amubbako essimu poliisi emukutte abatuuze ne bamuwaako obujulizi nga bwali omumenyi w'amateeka ow'olulango.

Herbert Kalule ye yakwatiddwa poliisi y'oku kapaapaali e Mulago  ne bamuggulako omusango gw'okubba essimu ku musaabaze eyabadde ava mu ttakisi ng'ono abatuuze baamuwaddeko obujulizi nga bwali mu kibinja ky'ababbi ekitigomya Kawempe nga buli lw'azze akwatibwa, ayimbulwa.

Kalule (ku ddyo) eyakwatiddwa.

Justine Mbabazi yagambye nti yabadde ava Mbarara ng'agenda wa muganda we e Mulago bwe yatuuse ku siteegi w'aviiramu e Mulago mu kufuluma ttakisi Kalule we yamunyakuliddeko essimu n'adduka wabula abantu abaamulabye baayambye okumukwata n'atwalibwa ku poliisi.

Kalule mu kwewozaako yagambye nti, "Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba, kuba okuva lwe baankuba mu 2019 ne mpisibwa bubi, okuva olwo nnava ku bubbi."

Omutuuze Kato Muwonge yategeezezza nti Kalule y'omu ku batigomya Mulago ng'azze akwatibwa n'ayimbulwa ng'ekisinga okwewuunyisa bazadde be bamuwakanira.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts