Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga bawakanya ekya poliisi okukeera okugumba mu kitundu kyabwe kye bagamba nti kigaana bakasitoma okujja okubakolako.
Mu kiseera kino poliisi n'amagye byebulungudde ekifo.
Ttiyaggaasi akubiddwa akosesa abamu ku bakolera mu kifo naddala abakyala.
Laba ebifaananyi
Bya PATRICK KIBIRANGO.