Thursday, October 22, 2020

Bawewenyudde omukazi kibooko lwa kutulugunya baana ba muggya we

 

 

BYA Rosemary Nakaliri

 

OMUKAZI agambibwa okutulugunya abaana ba muggya we akiguddeko abaakakiiko kwe bwbwe bamuwewenyudde kibooko oluvannyuma lw'abatuuze okumulumiriza. Juliet Aikolu yakwatiddwa abatuuze n'akakiiko akakulembera ekyalo mu kitundu kya Kazo Angola nga kigambibwa nti abadde amaze ebbanga ng'atulugunya abaana ba muggya we be yaleka ng'anobye. Abatuuze bagamba nti abaana abadde abasuza mu kaabuyonjo nga kw'assa okubakubanga buli olukedde nga bonna bajjudde ebisago ku mubiri.

Abatuuze baategeezezza nti ono okutulugunya abaana bano abaddenga akikola ne muto we oluvannyuma lwa taata w'abaana bano okukwatibwa n'asibwa.

Abaakakiiko ka LC mu Kazo Angola nga bakuba muganda wa Aikolu kibooko olw'okutulugunya abaana. Bombi ne Aikolu baabakubye.  Mu katono ye Aikolu n'abaana abaabakubizza.
Abaakakiiko ka LC mu Kazo Angola nga bakuba muganda wa Aikolu kibooko olw'okutulugunya abaana. Bombi ne Aikolu baabakubye. Mu katono ye Aikolu n'abaana abaabakubizza.

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n'okujjula amabwa omubiri gwonna ssaako okubasuza mu kaabuyonjo nga balina omusango gwe bazzizza.

Ssentebe w'ekyalo kino, Jane Francis Namukasa agamba nti abaana bano bamaze ebbanga nga batulugunyizibwa wabula buli lwe bagamba ku mukyala ono yeefuula nampulirazzibi bwe batyo nabo kwe kumukwata.

Eyeegwanyiza eky'obwakkansala bw'ekitundu kino, Herbert Kwoba ng'ali wamu n'abatuuze bavumiridde ekikolwa ky'abakazi bano okutulugunya abaana.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts