Thursday, October 22, 2020

Ab'e Nkozi badduukiridde ebibiina by'obwegassi n'obukadde 70

AKULIRA yunivasite ya Uganda Martyrs Nkozi asabye abavubuka okwenyigira mu bibiina by'obwegassi basobole okwekulaakulanya.

Mu kaweefube w'okutumbula ebyobulimi n'obusuubuzi, yunivasite eno edduukiridde ebibiina by'obwegassi n'obukadde bw'ensimbi 70 n'ekigendererwa ky'okutumbula ebyenfuna mu maka nga bayita mu kulima, okulunda n'okutondawo obukolero obutono.

Ensimbi zino zaabakwasiddwa amyuka akulira yunivasite eno, Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw'e Nindye mu ggombolola y'e Nkozi mu Mpigi n'asaba abavubuka okwettanira ebibiina by'obwegassi baleme kubirekera bazadde baabwe bokka.

Polo.Chrysostom Maviiri ng'akwasa ebibiina by'obwegassi obukadde bw'ensimbi 70 e Nindye mu Nkozi.

Polof. Maviiri yasoose kulambula bibiina bino ebiyambibwako ettendekero ly'e Nkozi nga liyita mu pulojekiti emanyiddwa nga Social Enterprise Project (SEP) n'asiima abalimi abeegattira mu kibiina kya ‘Nezikokolima Slic Group Lubanda' okubeera abakozi n'okukuuma obumu.

Ssentebe w'ekibiina kino yasiimye Yunivasite eno olw'obuyambi bw'ensimbi, endokwa ez'omulembe, enkoko n'emisomo egibayambye okwekulaakulanya, okutumbula ebyenfuna byabwe mu maka, okukendeeza obutabanguko mu maka n'okulwanyisa enjala kyokka n'abasaba
bayambibweko okubafunira obutale bw'ebintu byabwe.

Ebibiina ebyaganyuddwa mu nteekateeka eno kuliko; Basooka Kwavula Slic
Group, Nezikokolima Slic Group , Eyeeterekera Slic Group Kankobe Senero ekirunda enkoko ne Agali awamu Slic Group Kankobe Senero.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts