EBIWOOBE n'emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng'omulambo gw'abadde agisumba, Pasita Augustine Yiga Mbizzaayo gutuusibwa. Olugendo olusiibula Pasita Yiga lwatandise ssaawa 1:30 ey'oku makya ku Lwomukaaga. Lwatandikidde Mmengo aba kkampuni ya A -Plus gye baggye omulambo gwe mu luseregende lw'emmotoka okugutuusa ku kkanisa ye e Kawaala.
Gwayingiziddwa mu kkanisa ku ssaawa 2:40 era obwedda abantu bayaayaana waakiri okutuuka ku kkeesi bakwateko ate ng'abalala baagala kulabako okukakasa oba ddala omusumba waabwe y'alimu kyokka bakanyama ba UUBA abaabadde bateekeddwa ebbali n'ebbali w'olukuubo omwayisiddwa omulambo nga babalemesa.
Abakyala be baabadde basinga mu kkanisa nga bakira bakuba emiranga n'okwogerera waggulu nti taata, musumba, kitaffe, taata waffe, kabona, otulekedde ani? Era wakati mu miranga abamu baazirise ne bayolebwayoolebwa n'okuwujjibwa. Omulambo nga bagutuusizza we gwabadde gulina okuteekebwa, bamulekwa ne bannamwandu be baatudde okumpi ne kkeesi erudda n'erudda, wamu n'abooluganda n'abamu ku bakadde b'ekkanisa.
Omuyimbi Hassan Ndugga ye yasoose okuyitibwa n'ayimba oluyimba olusiibula Yiga lwe yamukubidde kyokka luno lwayongedde kusaanuula bakungubazi olwo emiranga egyabadde gisiriikiridde ne giddamu buto era ne Ndugga eyasoose okuba omugumu naye yatulise n'akaaba.
Oluvannyuma waabaddewo okwogera okuva mu basumba ab'enjawulo okwabadde omusumba James Kyakuwaza ng'ono yayogedde ku Yiga ng'abadde omusajja omulwanyi ebbanga ly'amulabidde. Obwedda bino bigenda mu maaso nga buli mwogezi amaliriza okwogera nga kkwaaya ekubawo oluyimba. Yiga aziikiddwa leero e Kawaala.
Source