PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby'entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng'abeegwanyiza obwapulezidenti beewandiisa eyombezza ab'ebidduka.
Ku Lwokutaano, omuduumizi wa poliisi y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano Norman Musinga yafulumizza pulaani ku ngeri gye bagenda okulung'amya ebyentambula mwe yalagidde mmotoka eziva ku lw'e Jinja nga zirina kukoma Kireka zinoonye amakubo amalala mwe ziyitira ate eziva e Kampala nga zidda Jinja nazo zikoma ku Spear Motors e Nakawa.
Musinga yagambye nti, mmotoka bagenda kuzisalirako mu bifo bitaano okuli Spear Motors ku ziva e Kampala okudda ku lw'e Jinja ziyite ku lw'e Ntinda oba Kinawattaka. Awalala we bagenda okusalirako kuliko Banda, Kireka, Kigobe Road okuliraana akakiiko ekitebe kya National Council for Higher Education ne ku Jokas Hotel e Namboole ku zinaaba ziva ku ludda lw'e Namanve.
Abava e Kampala nga badda ku lw'e Jinja baabawadde amagezi okukozesa enguudo okuli Old Port bell Road, Spring Road oluva e Kireka okugatta ku Kinawattaka olwo bagwe ku lw'e Jinja nga bafubutukirayo e Bweyogerere. Abalala babawadde amagezi okukozesa New Port bell Road oluyita e Nakawa bagwe ku Chwa II Road, bagwe ku lw'e Kinawattaka bagukkire ku Jokas Hotel e Namboole bayitemu okutuuka e Bweyogerere olwo beegatte ku lw'e Jinja.
Oluguudo olulala lwe bayinza okukozesa poliisi yabawabudde bayite ku New Port bell Road bagwe ku Ismail Road oba bayite ku ky'e Kireka okutuuka e Kinawattaka bafubutukireyo e Bweyogerere. Musinga yagambye nti, ekisaawe ky'e Kyambogo tekigenda kukkirizibwako muntu yenna ataaweereddwa lukusa kuva mu kakiiko ka byakulonda. Yagambye nti, bajja kukkirizaayo beesimbyewo n'ababawerekeddeko akakiiko k'ebyokulonda be kawadde olukusa.
Abagenyi abayite Musinga yagambye nti, bajja kutuuka ku kisaawe nga bayita ku Kyambogo Road bakozese ggeeti ya yunivasite ey'obugwanjuba. Mmotoka zonna ez'ebitongole ebidduukirira abagudde ku bibamba ebigwa tebiraze omuli ez'omuliro, ambulensi n'ez'abasawo zijja kuyita Banda era ggeeti y'e Banda gwe gujja okuba omulyango oguzifulumya.
Abanaaba bamaze okwewandiisa, poliisi yategeezezza nti, bajja kufulumira mu ggeeti eriraanye ettendekero ly'abayinginiya mu yunivasite bagwe ku Kigobe Road beeyongereyo. Loole, tezigenda kukkirizibwa ku lw'e Jinja. Ezinaaba ziva ku lw'e Jinja baagambye nti, zijja kuwetera Namboole ziyite ku Northern Bypass ate eziva ku ludda lwa Masaka ne Mityana, zijja kuwetera Busega nazo ziyite ku Northern Bypass.
Abeesimbyewo bonna baalagiddwa obuteetantala kuyingira mu kibuga wakati oluvannyuma lw'okwewandiisa era baabaganye okuyisa ebivvulu ku nguudo. Poliisi yagaanyi okusimba ku nguudo Musinga n'ategeeza nti, mmotoka yonna enaasangibwa ng'esimbiddwa ku kkubo, ejja kusikibwa etwalibwe ku poliisi eri okumpi.
Abantu abasula okumpi ne Kyambogo bakkiriziddwa okufuluma okugenda ku mirimu gyabwe kyokka balina kudda ng'okwewandiisa kuwedde. Musinga yagambye nti, okusalako amakubo kujja kutandika ku ssaawa 11 ez'oku makya ku Mmande gaggulwe ng'okwewandiisa kuwedde ku Lwokubiri olweggulo n'agattako nti, amakubo abagenda okwewandiisa mwe banaayita, gajja kubaamu abaserikale ba poliisi y'ebidduka n'ebitongole by'Ebyokwerinda ebirala.
Bodaboda nazo baalagidde obutasukka we banaaba basaliddeko makubo. Pulaani eno, abavuzi b'ebidduka abakozesa Jinja Road baagiwakanyizza ne bagamba nti, akakiiko k'eby'okulonda kandibadde kafuna awalala we kawandiisiza abeesimbyewo okusinga Jinja Road. "Ekkubo funda era okuliyitako mu nnaku ez'abulijjo lutalo kati okusindika mmotoka zonna e Kinawattaka oba oyagadde kusuza bantu mu kkubo," Meddie Lubega omuvuzi wa takisi bwe yategeezezza.
Ssentebe w'ekibiina ekigatta abavuzi ba takisi ekya UTRADA, Mustapha Mayambala yagambye nti, tewagenda kubawo kukola ennaku bbiri poliisi bw'eba tevuddeeyo mangu kubaako ky'ekola. Yagambye nti, okusindika mmotoka zonna e Kinawattaka ekkubo ligenda kukwata mmotoka zibeere mu kalippagano olunaku lwonna.
"Poliisi yeetaaga n'eyanguwa mangu amakubo agamu n'egafuula ‘one way' nga gayisa mmotoka ziva ku ludda lumu naye bw'etakola ekyo, abantu bajja kusula mu kkubo," Mayambala bwe yagambye. Yayongeddeko nti, n'ebisale by'entambula bigenda kulinnya kubanga bajja kuba tebasobola kutambuza bantu bawera.