Bya Jaliat Namuwaya
Bino byogedwa omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ku ddwaliro e Mulago ewakyakuumibwa omubiri gw'omugenzi .
Ofwono annyonnyode nti omugenzi okusinga obulwadde bwamutabukira wiiki ewedde omwali omusujja , omutwe , okukolora ne ssenyiga era awo kwekutwalibwa mu malwaliro agenjawulo okufuna obujjanjabi okwali eddwaliro ly'amagye e Kololo , e Nakasero ne ku ddwaliro lya Victoria.
Obulwadde bwa Covid 19 bwamuzuuliddwamu mu ddwaliro e Mulago era eno gye yassirizza omukka ogwenkomerero .
Enteekateeka ez'okuziika omugenzi zikyateesebwako wabula Opondo akakasizza nga bwe bagenda okugoberera obutiribiri amateeka ag'okuziika omuntu afudde Covid 19.