Thursday, October 29, 2020

Ebigambo bya pasita Yiga ebyewuunyisa

Ebigambo bya pasita Yiga ebyewuunyisa





1 Mu March wa 2020 nga Pulezidenti Museveni aggadde amasinzizo olw'okulwanyisa COVID-19, Yiga yagamba nti, ‘Abasumba ffenna tuli bakozi ba bbizinensi era ekkanisa zaffe kwe tulya.

Kati bw'aziggala nga ne COVID- 19 gw'ogamba taliiyo mu Afrika, obeera otegeezaki.' Bino byamuviirako okuggalirwa mu kkomera e Kitalya gye yamala ennaku 38.

2 Nga 16 January, 2019 bwe yali e South Afrika ng'atangaaza ku baali bamubika, Yiga yagamba nti, ‘Ssaasoma naye neebaza mukama okumpa amagezi agasinga n'abaasoma, nze kati e South Afrika nkozesa n'Abazungu naye mwe Bannayuganda abanjerega olw'obutamanya Luzungu ng'ate mmwe abalumanyi n'enjala ebattira awo, mbasekeredde".

3. Mu October wa 2019 bwe yayambala eby'ekisiraamu yagamba nti, ‘Allahu Akbar, Basiraamu baganda bange mbasaba mumpulirize, sirina kibi kyonna kye mbaagaliza wabula Katonda y'omu bwe bubaka bwe mbaleetedde.' Kino tekyalobera Sheikh Nuuhu Muzaata kukulembera Basiraamu kumulagira abeetondere olw'okwambala ebyambalo ebyo nga tamanyi makulu gaabyo. Mu kwetonda yagamba nti, ‘Basiraamu baganda bange, mbeetondera era ndowooza ekyo nakyo kiwedde.'

4 Mu 2015, Yiga yaggulwako omusango gw'obutalabirira mwana gwe yazaala mu Brenda Nalubega eyamulangira n'okumusiiga endwadde enkambwe. Oluvannyuma Yiga yali mu kkanisa ye n'agamba abagoberezi be nti, ‘Hmmm, omulwadde w'endwadde enkambwe (siriimu) ng'oyo bwe yayogedde aba afaanana nga nze? Ahaa, gwe bw'ondaba guno omubiri gulimu akalwadde ako!" Abagoberezi yabassa enseko n'enduulu.

5 Kyokka mu February wa 2019, obulamu bwa Yiga bwatandika okukyuka nga n'okukogga kw'atadde ne bagamba nti siriimu attuse. Ku olwo abo yabaddamu nti, ‘Ebintawaanya nsonga ndala era ng'omusajja naye abajega bagamba siriimu y'annuma! Zibasanze." Ku luno yali munyiivu ddala n'agattako nti, " Bwe nagejja ne bagamba empeke zingezezza kati nkozze bagamba ng'enda kufa, abaffe nze sirwalangako siriimu." Yalaba tebimumalidde enkeera n'ayongerako nti, ‘Ne Basudde gwe mwali muyita omwenzi ow'ebbaluwa teyafa siriimu wabula akabenje ke kaamutta."

6 Mu September wa 2014 waliwo omukyala eyasooka okutwala Yiga ku kkooti y'e Nabweru nga naye amulanga butalabirira mwana. Yiga yamwegaana n'abuuza nti, ‘Sha, omuntu n'agamba nti wali naye emyaka mingi emabega kyokka nga tolina ky'omugambye nti alina omwana wo n'omwekangira mu kkooti nti ayagala DNA, lwaki mutwesibangako okwonoona amannya gaffe. Nze nina erinnya zzito okukira ekyalo naye katukole DNA bajja kuswala.'

7 Nze Yiga siri mufere. Omuntu yenna gwe nafera aveeyo oloope oba annumirize. Emyaka 15 nga nsumba endiga omusiru y'atamanyi kye kitegeeza"

8 Sukuma emboozi" Kano abadde asinga kukakozesa mu pulogulamu ye gyeyatuuma "Kiki kyolifa teweerabidde" ng'abantu banyumya bye bayiseemu.

9 Okumanya abasumba bafere babeera ne saaviisi mu buli kadde ekitegeeza nti tebalina mirimu mirala gye bakola olwo ne bakamula endiga ssente nga ezo zeezibabeezaawo, nkiddamu ffenna tuli bafere era ekkanisa bizinensi ewedde emirimu."

10 Abasumba bonna balina emmotoka ez'ebbeeyi, ennyumba ennungi, ebintu ebyebbeeyi kw'ogatta okutambula amawanga agenjawulo. Ezo ssente ziva wa Yezu.

11 Bwe yasindika abayigirizwa okubuulira abantu ekigambo teyabawa bya kulya wadde ssente z'entambula". 12 Abasumba tukomye okwawula mu bagoberezi nga twesigama ku njawukana wakati waffe ng'abasumba".

13 Kinnyiga omutima okulaba ng'abantu ba Katonda beeyawulamu olw'okuba abasumba tebakwatagana, ekimmalako emirembe kwe kulaba omugoberezi okuva mu kkanisa n'adda mu ssabo"

15 Abasumba bonna bankoppye, bwe baalaba nteeka abantu ku ttivvi ne beeyabya nabo ne batandika okubikola. 16 Omuntu bwe yeeyabya kimuyamba okukkakkana n'eyandyesse abivaako kubanga abeera yeetikudde omugugu"

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts