Monday, October 5, 2020

Engeri Sebaggala gye yasitula abataasoma

Engeri Sebaggala gye yasitula abataasoma





Kino abadde atera okukikozesa buli lw'abadde ayogera ku by'enkulaakulana okulaga nti n'abo abatasomye balina endowooza ezikulaakulanya eggwanga.

Sebaggala yafuna ssente ng'akyali mwana muto.Abayindi bagenda okugobebwa mu Uganda mu 1971 nga y'omu ku balina obumanyirivu mu byobusuubuzi. N'okutuuka leero, ebigambo n'ehhombo z'omugenzi Sebagggala ziyambye bangi obuteenyooma.

‘YAYAGALA ABANTU BAWANSI'

1 Hajj Muhammed Katanyoleka Kigozi, akulira ekibiina ekigatta abapangisa mu Kampala ekya Uganda Tenants Needy and Squatters Asssociation. yagambye nti engeri omugenzi gye yakulira mu katale, yayagala nnyo abantu abatali bayivu abanyoomebwa.
Ssebaggala yayamba nnyo abakyala bamufunampola, yabakubirizanga okwekolamu obubiina bw'okwekulaakulanya ekyabayamba okufuna ssente za Gavumenti.

2 Hajji Musa Katongole, eyali omukulembeze wa UTODA yagambye nti, "ffe abaasooka mu mulimu gwa ttakisi, amaanyi n'obuvumu twabiggya ku Sebaggala. Yatulwanirira nnyo okulaba nti UTODA eweebwa omukisa okukola ne KCC (kati KCCA) okuddukanya Kampala.

3 Sheikh Sulaiman Guggwa omu ku bakulembera emikolo gy'eddiini mu ffamire y'omugenzi Sebaggala yagambye nti omugenzi bwe yalabanga mu muntu ekitone ky'obukozi ng'amusembeza.

Godfrey Kakooza, ssentebe w'akatale k'e Nakasero; "abaali mu katale ebiseera Sebaggala we yabeereramu batugamba nti yalina ehhombo nti "Tukole nnyo tusobole okuva we tuli leero", naffe ne tukyeyambisa okusitula embeera zaffe ez'obulamu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts