Monday, October 5, 2020

Mustafa Kizza asuddewo Cranes

Mustafa Kizza asuddewo Cranes




Cranes yeetegekera kuttunka ne South Sudan mu mipiira ebiri ng'ogusooka gwa November 9 oluvannyuma badding'ane nga 17. Bali mu mpaka zaakusunsulamu abalizannya eza Afrika mu 2022 e Cameroon.

Montreal etendekebwa eyaliko sitta wa Arsenal, Thierry Henry yagula Kizza n'ekkaanya ne KCCA agira agisigalayo ku looni okutuusa mu December olw'okuba corona yali atabuse.

Wabula kigambibwa yeefukuludde oluvannyuma lwa Gavumenti okukkiriza ennyonnyi okuddamu okutambula n'eyita Kizza.

"Montreal Impact yatusabye tumusindike abeeko by'amaliriza wabula asuubirwa okudda singa banaaba si baakumukozesa kati," Anisha Muhoozi, atwala emirimu mu KCCA FC bwe yategeezezza.

Ensonda zigamba nti okugaana kwa Kizza kyavudde ku bantu abaamuwadde amagezi nti yeesonyiwe Cranes kuba asobola okulwalirayo ng'ate kiraabu yamutaddemu ssente nnyingi.

Cranes yasitudde eggulo akawungeezi ng'esuubirwa okutandika leero okutendekebwa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts