AUGUSTINE Yiga 'Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka Pasita wa linnya mu ggwanga. Abazze balaba Yiga by'azze akola ng'okuyimba, okunyakula obusimu, okusawula, okubeera kazannyirizi n'amala n'abuulira enjiri eyawukana ku y'abalala bimufudde wa njawulo. Oluvannyuma lw'okuva mu ssomero ng'ali mu P4 e Bukomansimbi gye bamuzaala, yasooka kutaayaaya ku kyalo era n'abazadde ne bamuvaako. Kyokka okujja kw'abayimbi ba Lukwata Guitar Singers abaali bakulemberwa omugenzi Livingstone Kasozi ku kyalo nga bazze okuyimba, gwe mukisa gwe yakozesa okwesogga ekibuga. Olw'okuba yali muto mu myaka okusinga yabayambanga kubooleza n'okufumba emmere. Kyokka mu biseera by'eddembe baamuyigirizanga okusuna endongo era afudde agimanyi. Mu 1997 nga Kasozi agudde ku ndiri, Yiga yeesanga ng'ebyokuyimba babiyimirizza kuba ekibiina kyali kitambulira ku mukama waabwe eyali takyasobola kuyimba. Kigambibwa nti mu kiseera kino, Yiga we yasalirawo okuyiga obusamize era nga yabukolera emyaka ebiri ng'ali mu muzigo gwe e Kawaala. Mikwano gya Yiga gye yabuuliramu ng'agenda okwesogga obusamize yabagamba nti yali akizudde nga bulimu ssente. Yagula ekita, obuleku, ebibbo, effumu, emmwaanyi n'embugo n'atandika okusawula. Era buli eyayingiranga mu ssabo ng'akkiriza nti ddala musamize wadde nga yali yeeyiiya. Yiga lumu yategeeza Bukedde nti wadde ng'ebyobusamize byalimu ssente naye yakizuula nga byali biswaza era ng'abantu bangi bamulaba bubi. Mukwano gwe omu yamubaliramu ddiiru y'abafere abaatambuzanga akazannyo ka 'Ani akalengedde' era baamusiba mu makomera agawerako okwali ne mu nkambi y'amagye e Mbuya ne Luzira. YALI KAFULU MU KUNYAKULA OBUSIMU Jamil Mukiibi ow'e Bbakuli agamba nti, yasooka okulabagana ne Yiga mu 2006 bwe yali azze okuyiga okukanika essimu we yali akolera ewa Kyakulaga ne Frank Kikomeko e Nakulabye okuliraana Eliote mu 2006. Wadde nga Yiga baali bamukkiriza okuyiga naye teyabiwa budde kuba yali ayagala nnyo ssente z'amangu ezitamulwisa. Obudde obusinga yabumalanga mu kunyakula busimu era teyabulwanga ssimu z'atunda naddala ekika kya Nokia 3310 ne Erikson. Kino kyamuviirako okumusibanga olutatadde kuba yakwatibwanga nnyo n'amasimu agabuze. Yagambye nti Yiga ku ssimu yali tasaaga era ne we baakanikiranga ng'abalabiriza waakiri n'abulawo n'eryanda. Olunaku olumu yali yaakayimbulwa mu kkomera n'ajja n'abagamba nti; "bannange nkooye eby'okunzibiikiriza buli kaseera era nsazeewo ng'enda kulokoka". Mukiibi yagambye nti, yasooka kugenda wa Pasita Samuel Kakande n'asabirayo okumala akaseera ate gye yava okugenda e Malawi gye yamala emyezi omukaaga. Bwe yakomawo yategeeza nti yali mulokole awedde emirimu. Yatandika ekkanisa y'ebiwempe mu Kiwuunya e Makerere n'atandika okubuulira enjiri. Kyokka era yali wanjawulo ku bapasita abalala kuba yaleetanga abayimbi nga Ziza Bafana ne bayimbira mu kkanisa. "Bwe twasisinkananga nga bw'aba ansiibula ang'amba nti ng'enze mu ssabo kusawula. Yabanga ategeeza kkanisa era ng'alaga nti takyalimu ngalo". Waliwo abavubuka be baabeeranga nabo e Nakulabye be yakozesanga okuwa obujulizi obw'ekifere ng'amanyi okubasiiga enva z'ebinyeebwa ku mubiri ne baba ng'abaalwala olususu. Bano yabasabiranga era enkeera bwe baakomangawo nga bamaze okunaaba nga bawa obujulizi ku maanyi g'omusumba. Kyokka bangi baamukaabanga olw'obutabasasulanga bulungi ate nga ekkanisa yali efunye abagoberezi. Bwe yalaba nga tebikyatambula bulungi mu Kiwuunya, yasengukira e Kawaala ng'afunye n'ettaka eddeneko era baagenda okuwulira nga yeeyongera ttuttumu buli olukya. Bwatyo Yiga eyazaalibwa mu famire enkatulikiti, yafuukira ddala era okutuuka okufa nga bangi bamunyenyeza mutwe. Kubanga yatuuka okubuulira enjiri ezzaayo eddogo mu kifo ky'okusonyiwa, okupangisa abawa obujulizi ate n'agaana okubasasula ne bamutwala ku poliisi, okuleeta abayimbi b'ennyimba z'omukwano mu kkanisa n'okuleeta bassenga ne bakojja okuyigiriza ku nsonga z'omu kisenge mu kkanisa ekubyeko ng'agamba nti byonna bitambulira wamu. KIKI KYOLIFA TEWEERABIDDE? Yiga bwe yatandika ttivvi yaleeta pulogulaamu ezaayogeza abantu ebikankana nga 'Kalondoozi' ne 'Kyolifa Teweerabidde'. Kalondoozi yakolanga ebintu ebyali tebikkirizika era nga birabika ng'ebipangirire ekyawaliriza ekitongole kya UCC ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo okugiwera. Kuno kwe yagatta akanyomero ka 'Kyo- lifa Teweerabidde' mw'akyaliza abantu ab'enjawulo n'ababuuza ebibuuzo ebituukira ddala ne mu kisenge. AUGUSTINE Yiga 'Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka Pasita wa linnya mu ggwanga. Abazze balaba Yiga by'azze akola ng'okuyimba, okunyakula obusimu, okusawula, okubeera kazannyirizi n'amala n'abuulira enjiri eyawukana ku y'abalala bimufudde wa njawulo. Oluvannyuma lw'okuva mu ssomero ng'ali mu P4 e Bukomansimbi gye bamuzaala, yasooka kutaayaaya ku kyalo era n'abazadde ne bamuvaako. Kyokka okujja kw'abayimbi ba Lukwata Guitar Singers abaali bakulemberwa omugenzi Livingstone Kasozi ku kyalo nga bazze okuyimba, gwe mukisa gwe yakozesa okwesogga ekibuga. Olw'okuba yali muto mu myaka okusinga yabayambanga kubooleza n'okufumba emmere. Kyokka mu biseera by'eddembe baamuyigirizanga okusuna endongo era afudde agimanyi. Mu 1997 nga Kasozi agudde ku ndiri, Yiga yeesanga ng'ebyokuyimba babiyimirizza kuba ekibiina kyali kitambulira ku mukama waabwe eyali takyasobola kuyimba. Kigambibwa nti mu kiseera kino, Yiga we yasalirawo okuyiga obusamize era nga yabukolera emyaka ebiri ng'ali mu muzigo gwe e Kawaala. Mikwano gya Yiga gye yabuuliramu ng'agenda okwesogga obusamize yabagamba nti yali akizudde nga bulimu ssente. Yagula ekita, obuleku, ebibbo, effumu, emmwaanyi n'embugo n'atandika okusawula. Era buli eyayingiranga mu ssabo ng'akkiriza nti ddala musamize wadde nga yali yeeyiiya. Yiga lumu yategeeza Bukedde nti wadde ng'ebyobusamize byalimu ssente naye yakizuula nga byali biswaza era ng'abantu bangi bamulaba bubi. Mukwano gwe omu yamubaliramu ddiiru y'abafere abaatambuzanga akazannyo ka 'Ani akalengedde' era baamusiba mu makomera agawerako okwali ne mu nkambi y'amagye e Mbuya ne Luzira. YALI KAFULU MU KUNYAKULA OBUSIMU Jamil Mukiibi ow'e Bbakuli agamba nti, yasooka okulabagana ne Yiga mu 2006 bwe yali azze okuyiga okukanika essimu we yali akolera ewa Kyakulaga ne Frank Kikomeko e Nakulabye okuliraana Eliote mu 2006. Wadde nga Yiga baali bamukkiriza okuyiga naye teyabiwa budde kuba yali ayagala nnyo ssente z'amangu ezitamulwisa. Obudde obusinga yabumalanga mu kunyakula busimu era teyabulwanga ssimu z'atunda naddala ekika kya Nokia 3310 ne Erikson. Kino kyamuviirako okumusibanga olutatadde kuba yakwatibwanga nnyo n'amasimu agabuze. Yagambye nti Yiga ku ssimu yali tasaaga era ne we baakanikiranga ng'abalabiriza waakiri n'abulawo n'eryanda. Olunaku olumu yali yaakayimbulwa mu kkomera n'ajja n'abagamba nti; "bannange nkooye eby'okunzibiikiriza buli kaseera era nsazeewo ng'enda kulokoka". Mukiibi yagambye nti, yasooka kugenda wa Pasita Samuel Kakande n'asabirayo okumala akaseera ate gye yava okugenda e Malawi gye yamala emyezi omukaaga. Bwe yakomawo yategeeza nti yali mulokole awedde emirimu. Yatandika ekkanisa y'ebiwempe mu Kiwuunya e Makerere n'atandika okubuulira enjiri. Kyokka era yali wanjawulo ku bapasita abalala kuba yaleetanga abayimbi nga Ziza Bafana ne bayimbira mu kkanisa. "Bwe twasisinkananga nga bw'aba ansiibula ang'amba nti ng'enze mu ssabo kusawula. Yabanga ategeeza kkanisa era ng'alaga nti takyalimu ngalo". Waliwo abavubuka be baabeeranga nabo e Nakulabye be yakozesanga okuwa obujulizi obw'ekifere ng'amanyi okubasiiga enva z'ebinyeebwa ku mubiri ne baba ng'abaalwala olususu. Bano yabasabiranga era enkeera bwe baakomangawo nga bamaze okunaaba nga bawa obujulizi ku maanyi g'omusumba. Kyokka bangi baamukaabanga olw'obutabasasulanga bulungi ate nga ekkanisa yali efunye abagoberezi. Bwe yalaba nga tebikyatambula bulungi mu Kiwuunya, yasengukira e Kawaala ng'afunye n'ettaka eddeneko era baagenda okuwulira nga yeeyongera ttuttumu buli olukya. Bwatyo Yiga eyazaalibwa mu famire enkatulikiti, yafuukira ddala era okutuuka okufa nga bangi bamunyenyeza mutwe. Kubanga yatuuka okubuulira enjiri ezzaayo eddogo mu kifo ky'okusonyiwa, okupangisa abawa obujulizi ate n'agaana okubasasula ne bamutwala ku poliisi, okuleeta abayimbi b'ennyimba z'omukwano mu kkanisa n'okuleeta bassenga ne bakojja okuyigiriza ku nsonga z'omu kisenge mu kkanisa ekubyeko ng'agamba nti byonna bitambulira wamu. KIKI KYOLIFA TEWEERABIDDE? Yiga bwe yatandika ttivvi yaleeta pulogulaamu ezaayogeza abantu ebikankana nga 'Kalondoozi' ne 'Kyolifa Teweerabidde'. Kalondoozi yakolanga ebintu ebyali tebikkirizika era nga birabika ng'ebipangirire ekyawaliriza ekitongole kya UCC ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo okugiwera. Kuno kwe yagatta akanyomero ka 'Kyo- lifa Teweerabidde' mw'akyaliza abantu ab'enjawulo n'ababuuza ebibuuzo ebituukira ddala ne mu kisenge.
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...