Abantu 460,000 okuva ku byalo 729 be bagenda okuganyulwa mu pulojekiti eno.
Okusinziira ku lipooti y'akakiiko ka palamenti amaggombolola agagenda okuganyulwa kuliko; Lubya ne Buyaga mu bizinga by'e Buvuma, Nsambye ne Ntweete mu disitulikiti y'e Kyankwanzi, Mpumudde mu disitulikiti y'e Lyantonde, Bulera e Mityana ne Kigando - Nabingola e Mubende.
Amaggombolola amalala kuliko; Kinoni e Nakaseke, Kyalulangira e Rakai, Lugusuulu ne Mijwala e Sembabule.
Ebitundu ebirala ebiri ebweru wa Buganda ebigenda okuganyulwa kuliko; ebizinga bye Siguru e Namayingo mu Busoga, Rwahunga e Kyegeegwa - Tooro, Muramba ne Rukingiri e Kisoro, Kakindo ne Ndaiga e Kibale mu Bunyoro, Mukunyu ne Maliba e Kasese mu Bukonjo,Kidera e Buyende mu Busoga, Bulambuli mu Busoga, Biiso e Buliisa mu Bunyoro n'ebirala.
Pulojekiti eno egenda okukolebwa okuva mu nsimbi ezigenda okwewolwa mu bbanka ya Exim e Buyindi egenda kubaamu okussa obuuma obukolera ku maanyi g'enjuba obukuba amazzi okugabunyisa mu byalo.
Kkampuni ya Buyindi emanyoiddwa nfa Shakti Pumps y'egenda okubunyisa pampu zino ezikolera ku maanyi g'enjuba.