Baasoose kukuba kkamera y'ebweru ne balowooza nti kiwedde. Baanyaze dduuka lya Carol Byamugisha nga baze n'emmotoka mwe baatadde omunyago gwabwe.
Bano baatutte ebintu okuli kompyuta, emikembe gya langi, ssente n'ebintu ebirala.
Carol Byamugisha nnannyini dduuka lya Juliline e Bunnamwaya Kisigura yagambye nti bamukubidde essimu ku makya nga bamutegeeza nga ababbi bwe baamenye edduka lye kyokka bwe yazze n'asaga nga kkamera ey'ebweru ababbi baagitunuzza ku kisege kyokka ng'ey'omunda kw'eri.
Source