Sunday, October 18, 2020

Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa n'awera

Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa n'awera

OMUBAKA Latif Ssebaggala  olumaze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North n'awera. Agambye nti okusinziira ku byakoledde abantu b'e Kawempe, amaanyi g'abamuvuganya n'obuwagizi abantu bwe bamulaga wadde teyaweereddwa kkaadi ya NUP, agenda kuddamu okuwangula akalulu kyokka n'agamba nti amaanyi ge agasinga gali mu balonzi bwatyo n'abasaba obutamuvaamu.

 

Latif Ssebaggala ng'ayogera eri abantu.

Okwogera bino Ssebaggala yabadde y'akamala okwewandiisa ku Lwokuna ng'agenda ayisa ebivvulu ng'eno bwayogerako eri abalonzi mu bitundu eby'enjawulo.

Yagambye nti mwetegefu okubaweereza ate n'obusobozi abulina kubanga ne byabakoledde birabwako ng'okuwa abaana bassale, okulwanirira eddembe ly'obuntu, okutaasa ettaka ly'abantu okubbibwa n'ebirala n'abasaba baddemu okumulonda ayongere okubaweereza.

Ssebaggala yeewandiisizza ku Lwokuna ku kitebe ky'ebyokulonda e Ntinda.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts