Thursday, October 22, 2020

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolombo akagumya abagenda okusalwa embalu

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolombo akagumya abagenda okusalwa embalu

Bya Richard Wetaya

Ettosi lyali liteekebwateekebwa okukola omukolo gw'ebyobuwangwa guno ogumanyiddwa nga Imbalu. Mu lulimi Olumasaaba kiyitibwa ‘Khuakha Litosi' oba ‘Liloba', mu Luganda ekitegeeza okusiiga ettosi.

Omukolo ogwa ‘Khuakha Litosi' oba okusiiga ettosi gukolebwa ku bantu abagenda okusalibwa embalu bwe baba tebannaba kutandika kukomolebwa.

Embalu esalibwa abalenzi abavubuse nga akalombolombo mwe bayita okusajjakula ne bafuuka abasajja.

Omukolo gw'okusiiga ettosi mukulu nnyo mu kusala embalu wadde  nga mu kiseera kino eky'obulwadde bwa ssennyiga omukambwe, Covid- 19, abantu batono nnyo abaagulabako nga gukolebwa nga September 10,2020. 

Ku lunaku olwo, ekyalo Bunanyuma kyabuguumirira ng'abeng'anda z'abantu abaali bagenda okukolebwako omukolo gw'embalu bazina nga bwe bakola ebikujjuko, nga balinda abantu baabwe okuyitibwa mu lutobazzi basiigibwe ettosi.

Ng'enjuba emaze okugolooba, abataka abasatu baali bamaze okusaawa ekikande ekyali mu lutobazzi we baasottera ettosi, nga n'ebikere ebitera okukaabira mu lutobazzi nabyo bisirise be cce, nabyo nga biringa ebirinda okulaba enkuuka eddako.

Ng'abataka bamalirizza okusotta ettosi, ennyimba z'obuwangwa n'embuutu byatandika okuwulikika naye nga biri walako n'ekifo awaali wateekebwateekebwa okusiiga ettosi.

Ekyali Bunanyuma kyali kijjobi kyennyini, amazina ng'Abataka abasatu bazina wamu n'abantu abalala nga bwe basunda ebibegabega n'emikono.

Lwaki ettosi luvulula?

Peter Waneloba, omusomesa era Omutaka mu Bushika agamba nti ettosi okuvulula ke kabonero akooleka okubeerawo kw'amaanyi g'Omusambwa gw'Embalu.

"Amaanyi gano gamanyiddwa nga ‘Kumusambwa kwe Imbalu' mu Lugisu. Ettosi bwe liba livulula lyefaanaanyirizaako amalwa ageesera.

OKUTABAGANYA ABAGENDA OKUSALIBWA EMBALU N'EMYOYO GYA BAJJAJJAABWE

"Omukolo gw'okusaaba ettosi, ke kabonero akateeka abagenda okusalibwa Embalu mu ntabagana n'amaanyi g'omusambwa gwa Imbalu. Amaanyi gano tosobola kugalaba oba okugawulira, wabula galina obubonero bwe galaga abataka abateekateeka ettosi," Waneloba bw'annyonnyola.

"Obumu ku bubonero obwo kwe kuvulula kw'ettosi. Omukolo guno ogw'okusaaba ettosi ennaku zino gugenze gusereba, abantu abasinga tebagumanyi kubanga Abataka b'ekitundu tebakoze mulimu gumala okunnyonnyola nsonga eno eri Abavubuka. 

Nga September 10, abaali bagenda okusalibwa embalu nga bali wamu n'abazinyi baabwe, baatandika okuzina nga beetoloola ekibangirizi kya Bunanyuma Communual Grounds naye nga beekubye amabanga okwerinda Corona.

Oluvanyuma abantu mwenda  ab'okusalibwa embalu, baaleetebwa ku lutobazzi akawungeezi okusiigibwa ettosi nga tebannagenda kubasala.

OKUWA ETTOSI OMUKISA

Abataka abaategese ettosi baali bamaze okutegeka embuzi n'enkoko era ne babisala olw'okusiima amaanyi ga Imbalu. 

Ettosi buli lwe livulula abantu b'omukitundu bagamba nti liba lyesera ng'amalwa bwe geesera nga gatuuse okunywebwaera abamu balowooza nti guba mwenge gwa musambwa gwa Imbalu." Paul Nakhokho omu ku bakulembeze b'ekika e Manafwa bw'annyonnyola.

OMUGASO GW'OKUSAABA ETTOSI NG'OGENDA OKUSALIBWA EMBALU

"Abamasaaba bakkiriza nti okusaaba ettosi kuwa obuvumu n'okuguma eri abagenda okusalibwa. Era kaba kabonero akalaga emikisa  eri abagenda okusalibwa. Era kiyamba okwawula agenda okusalibwa ku balala abali ku mukolo." Waneloba bw'annyonnyola.

Kigambibwa nti ettosi lirina engeri gye ligumya n,okumyumyula omubiri gw'oyo agenda okusalibwa, ne kikendeeza ku misinde omusaayi kwe guddukira okusobola okulaba nga mu kiseera ky'okumusala tavaamu musaayi mungi.

ABATAKA BASIIGA ETTOSI

Abaali bagenda okusalibwa, David Wabuteya 17, ne James Makwa 16 baatwalibwa ku lutobazzi okubasiiga ettosi nga kigambibwa buli omu olwo yali alinnyiddwaako omusambwa gwa Imbalu 

Wakati mu kubasiiga ettosi, Umulongi yawulirwanga ng'ajjukiza abagenda okusalibwa okubeera abagumu baleme kutya kubasala kuba ekiseera kyali kituuse.

"Mu kiseera kino temulina kulowooza ku kintu kirala kyonna okuggyako okumaliriza okubasala obulungi. Mubeere bagumu awatali kutya wadde okukankana. Muweese abeng'anda zammwe n'ekika kyammwe ekitiibwa, kiyambe n'abalala abalijja okubeera abavumu okutwala ennono yaffe eno mu maaso." Umulongi bwe yabagamba.

Nga bamaze okubasiiga ettosi Wabuteya, Makwa ne banaabwe abalala baatwalibwa okusalibwa nga bawerekerwako abeng'anda zaabwe abaali babagalidde emiggo n'amajambiya okusobola okulaba nga omukolo gw'okubasala guggwa bulungi.

Wabuteya, Makwa ne bannaabwe omusanvu baabasala mu buvumu obw'ekitalo obwawa essanyu abeng'anda zaabwe.

OLWO BAALI BAFUUSE BASAJJA!

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts