Wabaluseewo olutalo lw'ebigambo wakati wa Emmanuel Sserunjoji ne Muhammad Mutazindwa abamu ku baasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky'Obwammeeya wa Kawempe.
Ekifo kino kiriko abavuganya bana okuli; Hajj Juma Wasswa (NRM), Ramadhan Lukwago (DP), Muhammad Mutazindwa (FDC) ne Emmanuel Sserunjoji (NUP) kyokka olutalo lw'ebigambo olw'amaanyi luli wakati wa bawagizi ba Mmeeya Sserunjoji (Mmeeya aliko) ne Mutazindwa.
Mutazindwa ng'amalirizza okusunsulwa ku Mmande ya wiiki eno, ye n'abawagizi be baayambalidde Sserunjoji ne bamusomera dduwa evumirira obukulembeze bwe.
Baakulembeddwa Rashid Sserunjogi kkansala (Bwaise 1). Baagambye nti ekikolimo kidde eri Sserunjoji eyeeyita ow'eddembe aleme kufuna kalulu kubanga obukulembeze bwe tebalina kye babufunyeemu okuggyako okubalabya ennaku. Balumiriza nti Sserunjoji ye yavaako emivuyo gy'omu ppaaka ne siteegi ez'enjawulo mu Kawempe.
Bagasseeko nti emirimu ku ofiisi za munisipaali, Sserunjoji yajjuzaamu banganda na mikwano ekivuddeko Bannakawempe abalina obusobozi okusigala nga tebalina kyakukola.
Sserunjoji yategeezezza nti, "mu kiseera kino twandibadde twogera ku bye tusobodde okukola era ndowooza Mutazindwa ne ttiimu ye bandibadde bagamba, nti Sserunjoji akoze bubi okukola emyala n'enguudo mu Kawempe."
"Bakkasala balina obuyinza okuntwala mu kkooti kuba tewali kikolebwa nga tebamanyi. Ebbanga lyonna ebiteeso tubadde tubiyisa balaba naye bwe bavaayo mu kiseera kino ekya kkampeyini, balina byabwe bye beenoonyeza", Sseronjoji bwe yayongeddeko.
Source