Ab'omu butale bw'omubuulo n'ebifo bya zzaala bakkiriziddwa okuddamu okukola ate bannabyabufuzi ne babongera omuwendo gw'abantu ab'okusisinkana mu nkung'aana zaabwe.
Oluvannyuma lw'ebbanga lya myezi munaana nga bali ku muggalo, gavumenti kyaddaaki ekkirizza abasuubuzi b'omu butale bw'omubuulo, ebifo bya zzaala, jjiimu, cinema okuddamu okukola. Kino kisanyudde abamu ku basuubuzi ne bagamba nti babadde mu bulumi nga n'abamu bannaatera okufiira mu mayumba ate abalala amabanja gabali mu bulago.
Ng'ayogera eri bannamawulire ku Mmande mu maka ge e Muyenga, minisita w'eby'obulamu, Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti bano bonna baakutandika okukola nga November 14, 2020 wakati mu kugoberera n'okuteeka mu nkola ebisaanyizo by'abasawo okukugira okusaasaana kwa corona nga beewa amabanga, okunaaba mu ngalo n'ebirala.
Yategeezezza nti aboobuyinza be kikwatako bajja kusooka kulambula bifo bino n'okulung'amya abakoleramu ku ngeri gye bagenda okukolamu emirimu n'okulaba abo abalina ebisaanyizo. Wabula minisita yagambye nti bbaala ne kiraabu byo bigenda kusigala nga biggale kubanga ebifo bino bikyali bya bulabe naddala mu mbeera gye tulimu.
BANNABYABUFUZI BABATADDEKO EBIRAGIRO EBIPYA Bw'atuuse ku bannabyabufuzi abatandise kampeyini zaabwe leero, Minisita agambye nti wadde tebakkirizibwa kukuba nkung'aana, bakkirizibwa okutuuza enkiiko z'abantu abatasukka mu 200 okuva ku 70 be basooka okubalagira kyokka bano balina okukuuma amabanga nga batudde n'okwambala masiki, okunaaba mu ngalo n'ebirala.
Ono era avumiridde ekya bannabyabufuzi abatambula nga bayisizzamu emitwe mu mmotoka zaabwe nti kino kireetera abantu okukung'aana mu bungi ekikontana n'ebiragiro ku corona.