
ABA St Balikuddembe (Owino) bayimirizza emisolo gyonna omuli ne ssente z'empooza nga bwe balindirira ebigenda okuva mu nteeseganya z'abakulembeze b'akatale ne dayirekita wa KCCA, Dorothy Kisaka.
Emisolo nga empooza eggulo tegyasoloozeddwa olwa minisita Betty Amongi okuyimirizza ssente zonna mu katale n'alangirira emisolo gya mirundi esatu.
Kino kiddiridde aba KCCA okwagala okweddiza akatale kano wiiki ewedde kyokka abasuubuzi ne bakiwakanya. Baataddewo embeera y'okulwana era poliisi n'eyiibwa mu bungi kyokka aba LC ne basaba KCCA basooke bateese olwokutya ebiyinza okuddirira ng'enjuyi ebbiri zirwana.
Wabula wakati mu kuteesa, minisita yawadde ebiragiro nti ssente zokka eziteekwa okusoloozebwa ku basuubuzi za mirundi esatu gyokka era eza KCCA zeegerese.
" Buli dduuka liteekwa kusasula ssente 144,000/-, omuddaala gwa ssente 132,000/- ne 78,500/- zokka eza buli mwaka era tewali mutemwa mulala gwonna" minisita Betty Amongi bwe yagambye.
Ssente zino abakulembeze ba SSLOA baazikkirizza kyokka ne balabula nti ekyokutwala akatale basooke bakiteeseeko.
Eggulo omwogezi w'akatale, Wilberforce Mubiru, yategeezezza nti bakyayimirizza ku mpooza ebadde esoloozebwa nga bwe balindirira okukkiriziganya okugenda okutuukibwaako.
Kyokka abasuubuzi ba SSLOA bakyakalambidde nti baagula akatale era ssente zaabwe baazisasula mu mateeka era kati ka bwannannyini tebasobola kumala gakkiriza KCCA kukeddiza kukaddukanya nga tebasoose kuteesa.
"Bwe tuteesa buli kimu kigenda kwanguwa era okukkiriziganya okwabaddewo ku Lwomukaaga kwayambye nnyo okukkakkanya emitima gy'abasuubuzi" Lukwaya bwe yagambye.
Eggulo akatale kaasiibye kakkakkamu ng'abakulembeze balindiridde kiddako mu lukiiko lwa KCCA ne SSLOA, era bakyakakuumye butiribiri nga bwe balindiridde ekiddako.