
Poliisi esazeeko kkooti y'e Makindye nga tekkiriza muntu yenna kuyingira munda. Kino kiddiridde abawagizi b'omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana okugumba ku kkooti nga baagala omubaka waabwe ayimbulwe n'abawagizi be abaakwatibwa ku Ssande e Salaama bwe yali anoonya akalulu.




Mu be baggalidde wabweru mubaddemu n'omubaka wa Lubaga South, Moses Kasibante omu ku babadde bazze okumweyimirira. Ssewanyana yakwatiddwa eggulo bwe yabadde agenze ku poliisi y'e Katwe okweyimirira abawagizi be abakwatibwa poliisi ku Ssande.