Embeera eno yakosa abantu bangi naddala abo abaagala okutegekera amaka gaabwe abaali bakozesa enkola za kizaalagumba kuba kyafuuka kizibu okufuna empeereza eyo mu budde obwo oba olyawo kiyinza okuba nga kyavirako abantu abamu okufuna embuto zebatetegekedde.
NZE Justine Namuddu nga mbeera Bboza mu disituliki y'e Mpigi. Ndi mukyala mufumbo era nga nkolera mu butale bwa mu Buulo. Mu kusooka ng'obulwadde bwa Covid 19 tebunajja tetwakaluubirirwanga mu byabujanjabi nga bwe kibadde ng'obulwadde buzze.
Nina abaana basatu omukulu wa myaka 8, 6 n'asembayo wa myaka 4, nsuubira okwongerayo okuzaala kuba mu nteekateeka zange njagala abaana bana.
Nandibadde kati muzizaako naye olw'embeera y'ebyenfuna njayagala nindeko okuzaala era y'ensonga lwaki nkozesa enkola za kizaala gumba ezitali zimu.
Nsinga kwettanira kumira mpeke era nga buli mwezi mbadde nga ntera okugenda mu ddwaaliro okufuna empeke ezo lw'embaamu n'akasente nga ngula mu bulwaliro obutunda. Ebiseera ebimu nakozesanga ne ku mpiso.
Naye mu kiseera ky'omuggalo tufunye okusoomozebwa okutali kumu ku ngeri gye tufunamu empeereza ezo. Kubanga entambula baali baaziggala ng'olina okutambula olugendo lwa mayiro eziwerako okusobola okutuuka ku ddwaaliro. Kyokka ng'olumu bwotuukayo ate nga bbo abasawo balemereddwa okufuna entambula ebaleeta nga tebaliiwo kusobola kukuwa ddagala ate olugendo n'oluzzaayo.
John Bosco Mubiru, ndi musajja musuubuzi nkolera mu Owino ntunda ngoye wabula mu kiseera ky'omuggalo ffena twadda waka nga tewali akkirizibwa kutambula wadde okukola.
Tulina abaana babiri era nga tukozesa enkola za kizaalaggumba, omukyala agenda mu ddwaaliro nebamukuba empiso emala emyezi esatu. Wabula twasanga obuzibu nti webaggalirawo eggwanga empiso yali enatera okugwako. Era bwe yagwako kyatubeerera kizibu okuddamu okufuna endala.
Omukyala yagezaako emirundi ebiri okutindigga olugenda okugenda mu ddwaaliro okuddamu okufuna empiso eyo naye bweyatuukayo nga abasawo abatuusa empeereza eyo nga tebasobodde kutambula kutuuka mu kifo webakolera kuba si bonna nti baalinaemmotoka ezibatambuza.
Embeera eno yaliwo okumala akaseera ate nga n'obulwaliro obutunda eddagala bwotambula okutuukawo obusinga bwabanga busibe kuba bannanyini bwo nga tebasobola kutambula okutuukawo kuggulawo. Kino kyatukola bubi netutandika obulamu okubutambuliza ku bunkenke okulaba ng'omukyala tafuna lubuto.
Nina mukwano gwange omusawo gwenakubira essimu eyangigiriza engeri y'okubala ennaku era teba nga zetukozesa naye nga era tukikolera mu kutya kuba nga tetuli betegefu kuzza ku mwana.
DR. Ben Katende owa Mpigi Hospital agamba mu kiseera ky'omuggalo kituufu abantu basanga obuzibu obutali bumu naddala abo abaali baagala empereza z'ekizaala gumba kuba omuwendo gw'abantu gweyongera obungi kuganga abasinga obungi mu kibuga baali bavuddeyo nga baddukidde mu byalo.
Noolwekyo omuwendo gw'abalwadde n'abaagala empeereza ezitali zimu gweyongero. Abasajja abasinga bava mu bibuga gye baali bakolera nebadda mu maka gaabwe noolwekyo obwetaavu bw'okukozesa enkola za kizaalagumba bweyongera newankubadde nga kyazabuwangamu mu kadde k'omuggalo empeereza zino okuzina.
Kuba ku ddwaaliro lya Mpigi omwendo gw'abakozesa enjola za kizaalagumba gweyongera kuba okuva mu October - December 2019 abantu abaali bakozesa enkola za kizalagumba ez'ekiseera ekimpi ng'ampeke, obupiira baali 270 ate abakozesa enkola z'ekiseera ekiwanvuko nga obuweta, empiso, baali 371.
Ate mu April - June 2020 mu kiseera wetubeeredde ne ssenyiga omukambwe abakozesa enkola ez'ekiseera ekimpi baali 224 ate abakozesa enkola z'ekiseera ekiwanvuko babadde 675 kitegeeza omuwendo gw'abantu gweyongera newankubadde ng'empeereza zaali nzibumu okubatusibwako.
Ekirungi ekyaliwo tetwafuna ku buzibu bwaddagala kubula naye ekizibu ekyasinga obukulu y'engeri abantu gyebaalina okufuna empeereza zino.
Abantu bafubanga abamu okutambula ate nga batambula engendo mpanvu okusobola okujja okufuna empeereza zino kuba mu malwaliro ga gavumenti za bwereere ate mu kiseera ekyo abasinga obungi baali tebakola nga tebalina ssente era nga kyebalina okukola kutambula kunoonya malwaliro ga gavumenti ag'obwerere.
Abalwadde abasobolanga okutambula ne batuuka mu ddwaaliro ate basanga nga abasawo abasobola okubatusaako empeereza ezo nga tebaliiwo kuba bangi tebaalina mmotoka za bwannanyini ate abamu tebalinanga sitiika zibasobozesa kutambula noolwekyo nebesanga nga tebasobodde kutuuka ku mulimu kutuusa empeereza ezo ku baali bazetaaga.
Abalwadde bafuna obuzibu mu ntambula kuba bodaboda ezaali zitambula mu kiseera ekyo nga tezikirizibwa kuweeka muntu okuleka emiguggu gyokka. Olwo bangi nebasigala awaka nebatasobola kufuna mpeereza zino.
Abantu abapya abaali baagala okutandika empeereza zino nabo banganga obuzibu obutafuna mukisa gosooka kubanyonyola ku kyakusalawo kuba abasawo tebabaagawo kubawa budde kubannyonnyola nga weesanga omuntu omu n'amala gakozesa nkola etakwagana na mubirigwe y'ensonga lwaki abamu bamaliriza bagamba nti zibayisa bubi.
Ate abasajja abamu abaalinga tebamanyi nti bakyala baabwe baalinga bakozesa enkola zino abakyala kyabakaluubiriramu okubamatiza nti baziriko. Kuba bwezagwako mu kiseeera ekyo okubawa ssente okugenda mu bulwaliro nokyo kyali kizibu.
Lilian Kamanzi Mugisha ow'ekitongole kya Amref Health Africa in Uganda agamba nti mu kiseera ky'omuggalo waaliwo okuwubisibwa era abantu abasinga baalowooza nti amalwaliro tegaalinga maggulu ku mpeereza ndala nga balowooza nti amalwaliro gajanjaba ssenyiga omukambwe yekka. Era mu mwezi gwa April ne June tebajjumbira nnyo malwaliro nga balowooza bajanjaba ssenyiga omukambwe yekka. Abakyala abamu mu malwaliro baatyangayo okugendayo noolwekyo nebasubwa empeereza eno.
Obuzibu obulala obwaliwo mu kiseera ekyo abasawo abaali balina okubunyisa eddagala lino tebalisabangayo mu sitoowa gyelyalinga ate nga mu materekero g'eddagala lyalingayo.
Wabula ekiseera kyatuuka ekitongole kya Uganda Family planning consortium babaga ekiwandiiko era nebasaba tigattibwe mu kwogera kw'omukulembeze era nakisoma ngakubiriza abantu nti n'empeereza endala mu malwaliro zikyakola so si ssenyiga omukambwe yekka.
Mu mwezi gwa July ne August embeera yaddamu okutereera obulungi abantu nebaddamu okujjumbira amalwaliro. Amref Health Africa in Uganda nga bakolaganirawamu ne Uganda Family Planning Consortium batandika okukola obulango obwayitanga ku mikutu gy'empuliziganya okuyita abakyala okugenda mu malwaliro okufuna empeereza z'enkola yakizaalagumba.
Musawo Betty Nanjobe akulira okutuusa empeereza ya kizaalagumba mu ddwaaliro lya Kafumu Health centre II agamba nti abantu babadde bettanira enkola zino mu kiseera ky'omuggalo newankubadde nga babadde batambula engendo mpanvu.
Eddagala mu ddwaaliro libaddemu naye ng'obuzibu naffe ng'abaswo nga tetukola buli lunaku olwentambula eyali esibiddwa nekiremesa abamu abaali baagala empeereza eno okugifuna. Ate nga ne mu bulwaliro gye bandibadde baligula nga nabwo tebukola bannanyini bwo nga tebalina ntambula ebatuusa ku mirimu.