Wednesday, November 25, 2020

Abagagga bazzeeyo ku nnyanja awaali akabenje

Abagagga bazzeeyo ku nnyanja awaali akabenje

ABAGAGGA abaasimattuka akabenje k'eryato lya Mv Templa nga November 24, 2018 (emyaka ebiri emabega) ne mikwano gyabwe basitudde ne baddayo ku Mutima Beach e Mubanda mu ggombolola y'e Mpatta mu Mukono ne bawaayo obukadde 50 okuyambako okuzimba Klezia ya St. Ponsiano Mubanda egenda okukola nga ekijjukizo.

Faaza ng'ayaniriza Omulangira Wasajja.

"Nzijukira Mukama bwe yanteekako ekisa ne mbeera omu ku baasimattuka okufa akabenje. Mu lyato muno omwali abantu 99, okwali abantu abamanyi okuwuga nga balina ne jjaketi eziziyiza abantu okubbira, ffe b'ani abakyaliwo?" Omulangira David Wasajja bwe yayogedde.

N'agattako nti, "omugenzi Templa Bisase eyali avuga eryato yali amanyi okuwuga kuba yatendekebwa magye ga Amerika ag'oku mazzi naye teyasimattuka... Ffe abaliwo twetaaga okwebaza Katonda kuba yatulekawo lwa nsonga." Omulangira Wasajja eyakulembedde bakaawonawo eggulo okugenda okujjukira bannaabwe 33, abaafi ira ku lyato bwe yagambye.

Wasajja yayanjudde ssente zino nga zaasondeddwa abantu abenjawulo okuli omugagga Godfrey Kirumira eyatodde 10,000,000/-, looya Masembe Kanyerezi obukadde 10, Bashasha 10, Pius Mugalaasi obukadde 5 ne Freeman Kiyimba obukadde 5. Ku nsimbi ezo, Wasajja yagasseeko 2,500,000/- ze yawadde ffamire ya John Bosco Owecho okusasulira bamulekwa ffi izi n'ebyetaago ebirala. Baagasseeko kkeesi z'engoye bbiri ze baatwalidde abatuuze b'e Mubanda ku Mutima Beach abaabadduukirira.

Beebazizza abatuuze b'oku mwalo guno n'omugagga Danniel Musisi amanyiddwa nga Gabuda owa Mutima Beach kuba buli lwe baddayo babaaniriza.

KIRUMIRA ALABUDDE KU CORONA Ssentebe wa Kwagalana eyagenze n'abaasimattuka eryato, Godfrey Kirumira yasabye abalunnyanja okubeera abeegendereza ku bulwadde bwa Corona nga bagoberera ebiragiro bya minisitule y'ebyobulamu.

Omukolo gwakulembeddwa Ekitambiro kya Mmisa eyasomeddwa Fr. Gonzaga Ssali ow'ekiggo kya St. Paulo Mukono eyakubirizza Abakristu okwetegekera okufa kwabwe kubanga Katonda essaawa yonna atwala abantu be. Yagambye nti asuubira omusaayi ogwayiika mu kifo kino gugenda kuleetawo enkulaakulana mu kitundu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts