ROBERT Kyagulanyi Ssentamu bwe yabadde e Bundibugyo, yalengezza abawagizi be mmotoka ya poliisi n'abagamba: mmotoka eri eya poliisi mugiraba? Mulimu
omusajja bamuyita Sobi. Annondoola buli we ndaga.
Sobi ng'amannya ge amatuufu ye Paddy Sserunjogi yali mumenyi w'amateeka kyokka
n'akyuka n'atandika okukolagana n'abeebyokwerinda okulwanyisa ababbi n'abazzi
b'emisango abalala.
Bukedde yayogedde ne Sobi ku ssimu n'agamba: kituufu ndi Kasese ku mirimu gya
byakwerinda. Eno si nze nneetumyeyo. Bakama bange bansindise ku mirimu.
Kyokka n'agattako: Ebyange ne Bobi biwanvu.
Tuludde nga tuli baamukwano. Tulina bye twakkaanyaako naye. Nnakola endagaano okuweereza eggwanga. Nkola mu byakwerinda, siyinza kugaana kugenda gye bantumye. "Mubuuze Bobi lwaki atya nze n'atatya bammundu abamwetoolodde?", bwe yagambye.
Kyokka Sobi yagaanyi okwogera ku bigambo bya Bobi eyalumirizza nga Sobi bwe yabadde mu kamotoka ka poliisi e Bundibugyo.
Kyagulanyi yagambye nti amanyi misoni Sobi gy'aliko nga yaabulabe eri ye Kyagulanyi. Yagambye nti misoni ngazi erimu n'okumutuusaako obulabe.
Wabula poliisi yabadde emaze okutegeeza bw'eterina buzibu na Kyagulanyi
kasita agoberera amateeka g'ebyokulonda n'ebiragiro by'okwerinda corona.
Source