ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku bbaala. Bano mulimu abalima; omuwemba, muwogo, kasooli n'ebirala ebikozesebwa mu kusogola omwenge.
Abalimi bano okuva mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo, nga bakulembeddwa Sosimu Twesiga, baasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Lugogo.
Baalaajanidde Gavumenti okukkiriza ebbaala okuddamu okukola nabo basobole okufuna akatale k'ebirime byabwe nga bagamba kkampuni ezisogola omwenge tezikyalina busobozi kubagulako birime byabwe olw'ensonga nti omwenge gutambula kitono olw'omuggalo.
Bategeezezza nti okuva mu March bafiiriddwa ssente eziri mu buwumbi era batuuse n'okutunda ebirime byabwe ku ddondolo okwewala okufiirwa ssente zonna.
Twesiga yayongeddeko nti abalimi abamu bawaliriziddwa n'okugoba abamu ku bakozi baabwe be babadde bakozesa ku ffaamu zaabwe nga bagamba tebakyalina nsimbi za kubasasula ate n'amabanja gabali mu bulago. Bagamba ebintu byabwe bituuse okutwalibwa bbanka ezaabawola ssente.
Abalimi bano basabye Gavumenti okuggula ebbaala kiyambe kkampuni ezikola omwenge okuddamu okukola obulungi.
Friday, November 27, 2020
Abalima ebikozesebwa mu kusogola omwenge basabye ebbaala ziggulwe
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...