EYALI nnakinku w'okuzannya omupiira, Diego Armando Maradona yavudde mu bulamu bw'ensi eno ku Lwokusatu akawungeezi. Yabadde ssaawa ya nnaku mu Argentina ne mu bagoberezi b'omupiira mu nsi yonna.
Lumu ng'ali mu lukiiko lwa bannamawulire, munnawulire omu yamugamba nti enjaga gye yanywanga ye yamuyamba okuzannya omupiira n'asobola okusukkuluma ku banne.
Mu kumwanukula, Maradona yamugamba nti, "Nsabe FIFA, etukkirize tufuneyo omuzannyi omu bamuwe enjaga akole ebyo bye nakolanga ku kisaawe bwe muba mulowooza nti nasambisanga njaga."
Buli eyali mu lukiiko olwo yatulika n'aseka. Mu kiseera ekyo, bangi baali bakimuteekako nti tekyali kitone kye, wabula yali njaga.
Kino Maradona yakiwakanyanga wadde nga yakkirizanga nti yanywanga enjaga. Maradona ayinza okuba ye muzannyi ekyasinze okuba ow'omutawaana mu nsi eno. Wadde nga waliwo okukubangana empawa ku ye n'Omubrazil Pele ani asinga, okwo kwe bagatta Cristiano Ronaldo ne Lionel Messi kyokka bangi bakkiriza nti ekitone kya Maradona tekiriddamu kulabwako.
Ku ssaawa nga 6:00 ez'omu ttuntu ku Lwokusatu mu Argentina, Maradona yafulumye ekisenge kye n'atuulako mu ddiiro kyokka yabadde tannawezaawo ddakiika 10 n'ategeeza mutabani we (omwana wa mwannyina) gw'abadde abeera naye nti ‘Me siento mal' ekivvunulwa nti, ‘I feel sick' mu Lungereza oba nti mpulira ndi mulwadde.
Mu kiseera ekyo, Maradona yazzeeyo mu kisenge era wayise essaawa nga 3 omukozi n'agenda alongoose mu kisenge kye yagenze okukwata ku Maradona nga yafudde dda.
Yapakuse n'akuba essimu era mu ddakiika ezitaaweze 10 ambyulensi 9 zaabadde zimaze okuyingirawo olwo abasawo ne bagezaako okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bamuzza engulu okutuusa bwe baategeezezza nti afudde.
Emiranga gyatandikiddewo, ambyulensi zaamuvuze okumwongerayo mu ddwaaliro era ekyaddiridde ye Pulezidenti wa Argentina okulangirira nti omwagalwa w'abangi Diego Maradona afudde era n'alangirira ennaku 3 ez'okukungubaga.
"Wafuula eggwanga lyaffe nnamba emu. Watuwa essanyu eritagambika. Ggwe obadde asinga mu bonna era teri alikuvuganya. Weebale kubeera ku nsi kuno, Diego. Tugenda kukusubwa lubeerera," bwe bubaka pulezidenti wa Argentina, Alberto Fernández bwe yawereekerezza omugenzi Maradona.
Maradona abadde yaakamala wiiki 2 ng'avudde mu ddwaaliro oluvannyuma lw'omusaayi okwetukuta mu bwongo.
Friday, November 27, 2020
Engeri Maradona gye bamusinza ng'eddiini olw'omupiira n'enjaga-
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...