PASITA Andrew Jjengo eyasikidde Augustine Yiga Abizzaayo alaze bw'agenda okuddukanya ebyobugagga bya kitaawe eyaziikiddwa ku Ssande.
Jjengo 23, ye yazze mu bigere bya kitaawe abadde akulembera Revival Christian Church, ABS TV ne Revival Band. "Taata abadde kyakulabirako gyendi mu
by'omyoyo n'ebyoku nsi era andekedde omugugu munene gwe nnina okwetikka.
Abalowooza nti ekkanisa ne ttivvi ya ABS bigenda kugwa mbakakasa nti bigenda
kweyongera maanyi", bwe yategeezezza.
N'agamba nti kitaawe yamulekedde baganda be ba mirundi esatu b'alina okulabirira era
b'agenda okutambulizaako obuweereza bwe. Abasooka be baganda be ab'omu ntumbwe, kyokka yalaze okutya olw'okuba nga bakyali bato mu myaka kuba
amuddako wa 16 addako 14 n'abalala ne bagoberera.
Baganda be abookubiri be bakozi ba ABS TV kuba Yiga abadde takola kintu
kyonna nga tabasasudde. Yabakuutidde okusigala nga bali bumu era nga baagalana nga ye (Yiga) bw'abadde abaagala.
Jjengo yagambye nti alina obusobozi n'obumanyirivu ebijja okumusobozesa okutwala
mu maaso emirimu gya kitaawe n'akikkaatiriza nti; "tewali kigenda kudda
mabega".
Yasiimye amawulire ga Uganda n'agamba nti nga gwe mulundi ogusoose yalabye nga bawandiika ebintu ebituufu ku kitaawe n'okusinga bwe gubadde nga mulamu.
Ekyabadde mu kuziika ku Ssande kyamulaze bulungi nti bulijjo abalwanyisa kitaawe
bamala biseera.
Mu kiraamo kya Yiga kye yakola nga August 28, 2020 yawadde Jjengo ekifo ky'okubeera Pasita omukulu ow'ekkanisa wadde nga waliwo bapasita abalala bangi
b'alabamu obusobozi.
Yakuutidde abagoberezi n'abakadde b'ekkanisa okuwabula Jjengo mu nzirukanya y'emirimu kuba amulese akyali
muto mu myaka.
Mu ngeri y'emu era Jjengo gwe yalonze ng'omusika we ow'omusaayi era yamukuutidde okugatta abaana bonna b'alese azadde.
YIGA YAFUDDE YEENENYEZZA
Kelisha Twinomugisha abadde ajjanjaba Yiga mu ddwaaliro yagambye nti
ekiseera Yiga ky'amaze e Nsambya nga mulwadde yafunye omukisa ogwenenya.
Yamufunidde Pasita eyamusabidde ne yeenenya era we yafiiridde nga yeenenyezza ebibi. Yasabye abantu bonna
abaliko omugenzi bye
yabasobya okumusonyiwa.
Pasita Andrew Jjengo
Njagala kutereeza nti ekkanisa tebagisikira. Ekyasomeddwa mu
kkanisa tekyabadde kiraamo. Byabadde bigambo bya Yiga ebyasembayo.
Ekkanisa kya bugagga kya bantu bonna kubanga be baagizimba. Eby'obugagga ebisikirwa bye biri mu kiraamo. Eby'ekiraamo n'ebyabadde
mu lukiiko lwa ffamire nja kubyogerako luvannyuma.
Kelisha Twinomugisha abadde ajjanjaba Yiga ku kitanda:
Yiga yambuulira ebintu bye bingi. Ekirungi yalese atukwataganyizza
n'omusika Pasita Jjengo.
Tuesday, November 3, 2020
Omusika wa Yiga alaze bw'agenda okuddukanya ekkanisa
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...