ABAWAGIZI ba DP bakonkomalidde mu kibuga Kasese bwe balindiridde Pulezidenti waabwe Norbert Mao eyabadde ateekeddwa okutongoza kampeyini ze mu kitundu kino.
Ssentebe wa DP mu Kasese, Joseph Kule Kule yategeezezza Bukedde nti, baabade bategese abawagizi ba DP okwaniriza Mao n'amaanyi kyokka baamulinze okuva ku makya okutuuka lwe bwazibwe nga talabikako.
Kule yagambye nti, tewali mukungu wa DP okuva ku kitebe e Kampala yabakubidde ssimu kubategeeza nti Mao takyazze era amaanyi gaabawaddemu Mao nga talabiseeko. Bukedde yakitegedde luvannyuma nti Mao yasimbudde ku Lwokubiri okwolekera Kasese mu luseregende lwa mmotoka kyokka oluvannyuma ne boolekera e Ntinda mu maka ga Mao.
Robert Katalemwa omu ku bawagizi ba DP yategeezezza nti kibakoze bubi Mao obutagenda Kasese. Omwogezi wa DP Opio Amanu yagambye nti waliwo ebikyasibye Mao okutandika kampeyini naddala ebipande bye okuba nga tebinnaggwa kukubwa.