Thursday, November 12, 2020

Munnyambe muwummuze Museveni ekintu nkikwatemu - Muntu

Munnyambe muwummuze Museveni ekintu nkikwatemu - Muntu

GEN. Mugisha Muntu olwayingidde e Ntungamo gy'asibuka ne yeegattibwako abawagizi be ne bayisa ebivvulu oluvannyuma omubaka Gerald Karuhanga n'amukulembera ne baggulawo ofiisi ya ANT eri ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale.

Olwavudde wano yayolekedde e Galiraaya we baakuhhaanidde n'asaba abantu bamuwe akalulu kubanga ye mwana nzaalwa mu kitundu kino era n'emyaka gyonna gye yakola mu gavumenti n'okukulembera amagye talina nziro yonna.

Yagambye nti bwe bamukwasa eggwanga asobola bulungi okulitwala  mu maaso era yabagambye bamuteeke ku minzaani n'abalala bamulonde ssi lwa kuba nti gye bamuzaala wabula olw'obusobozi bw'alina. Wano we yabategeerezza nti ekyamuggya mu NRM yalaba nga baava ku miramwa egyabaleeta kyokka ye bwe bamulonda ajja kubakulembera okubituukiriza.

Yasabye abantu bawummuze pulezidenti Museveni kubanga be balina obuyinza okukikola kubanga gavumneti nnyingi mu Afrika abakulembeze bwe bagaanye okuwummula mu mirembe ebintu tebibagendedde bulungi. Yagenze n'e Ruhaama era leero asuubira okugenda mu ssaza ly'e Kazara gye bamuzaala abamatize okumuwa obululu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts