
DISITULIKITI y'e Kayunga yeggyeko obuvunaanyizibwa okuddukanya eddwaaliro ekkulu ery'e Kayunga ne baliwayo mu minisitule y'ebyobulamu erisuumuse ne lifuuka ‘Regional referal'.

Abasawo bonna n'abakozi abalala balagiddwa okuddamu buto okusaba emirimu. Eddwaaliro lino lyawedde okuddaabiriza n'okuligaziya era nga lyawemmense obuwumbi 70 gavumenti ze yeewola mu bbanka ya ADB.
Bakansala baatudde ne basalawo nti ssente obukadde 400 ze bateeka ku ddwaaliro lino buli mwaka tezikyamala kuliddukanya kubanga kati ligaziyiziddwa nnyo ne bazimbako n'ebifo ebijjanjaba endwadde ez'ekikugu n'olwekyo tebakyasobola kulyesibako.
Eddwaaliro lino lyazimbibwa mu myaka gya 1970 libadde lyafaafagana ng'ebintu bingi tebikyakola era nga lyeyunirwa abalwadde okuva mu disitulikiti okuli Kayunga, Mukono, Kamuli, Nakasongola, Buikwe n'endala ezeetoolodde Kayunga. Kwazimbiddwaako n'eddwaaliro eritali lya lukale nga ng'okukujjanjabirayo olina okusasula ssente.
Bagumizza abasawo ababadde bakolera mu ddwaaliro lino nti tebagenda kufiirwa mirimu wabula bonna baakuddamu okusaba emirimu abataayite mu kasengejja baakuddizibwa disitulikiti ebagabe mu malwaliro gaayo amalala.