
YASOOSE kukubira mulongo munne Babirye essimu n'amutegeeza nga bw'agenda okukola ekintu ekitali kya bulijjo bonna kye balifa nga bamujjukirirako. Mwannyina teyategedde nti Joseph Kato 27, yabadde yamaze dda okuwagala ekiso kye yakozeseza okusala nnyaabwe Nnaalongo Beatrice Kyalema obulago.
Ettemu lino lyabaddewo ku Lwomukaaga ku luguudo lw'e Salaama mu Kifampa zzooni mu munisipaali y'e Makindye. Kigambibwa nti Kato bwe yamaze okusala nnyina obulago yamuggyeeko ssente zonna ze yabadde nazo n'alinnya bodaboda n'abulawo.
Abamu ku batuuze baategeezezza nti Kato aludde nga yeegeza mu kutta nnyina era baganda be bazze bamutwala ku poliisi y'e Katwe enfunda eziwera kyokka nnyaabwe (kati omugenzi) n'amweyimirira Mmeeya wa Makindye Hajji Ali Nganda Mulyanyama yatuuse mu kifo kino n'asasula abookya ebyuma abaasaze enziji poliisi n'esobola okuggyayo omulambo.