Thursday, November 5, 2020

Akakiiko kawadde ennaku 64 okutalaaga disitulikiti 146

Akakiiko kawadde ennaku 64 okutalaaga disitulikiti 146

AKAKIIKO k'ebyokulonda kalangiridde nti ku Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw'okulonderako pulezidenti n'ababaka ba Palamenti. Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, yafulumizza ekiwandiiko eggulo ng'ategeeza nti olwaleero akakiiko kagenda kutuula n'abeesimbyewo okukkaanya ku pulogulaamu zaabwe eza kampeyini ezitandika mu butongole ku Mmande nga November 9, 2020.

Museveni New

Byabakama yannyonnyodde nti kampeyini zaakumala ennaku 64 okuva November 9, 2020 zikomekkerezebwe nga January 12, 2021. Abeesimbyewo balina okutalaaga disitulikiti 146 mu nnaku 64 zokka.

Akakiiko era kalaze engeri abantu 11 abaakakasiddwa okwesimbawo ku bwapulezidenti bwe bagenda okulabirakira ku kakonge k'obululu nga Pulezidenti Museveni n'asemba wansi, ate Omubaka Kyagulanyi ali mu kifo kya mukaaga. asooka waggulu ye Amuriat Oboi owa FDC.

Bobie   Barbie Smart

Akakiiko kaagenze okulangirira enteekateeka ez'okusisinkana bonna abeesimbyewo ng'abamu ku bantu 11 abaasunsuddwa okwesimbawo ku bwapulezidenti baamaze ddala okulaga ebitundu mwe bagenda okutongoleza kampeyini zaabwe .

Pulezidenti Museveni yalangiridde nti waakotonza kampeyini ze ku Mmande, e Kawumu mu Luweero ng'eyo ajja kusooka kutuuza lukuhhaana lwa bannanawulire n'oluvannyuma akube olukuhhaana lwa kampeyini nga lugoberera amateeka aga Minisitule ey'ebyobulamu ku Corona.Amuriat Akaaba

Akwatidde FDC bendera ey'obwapulezidenti Patrick Oboi Amuriat yateezezza nti kampeyini waakuzitongoleza mu butaka bwe e Soroti ku Mmande eyo gy'agenda n'okutongoleza manifesto ye. Omubaka Kyagulanyi Sentamu owa NUP agenda kusooka kutongoza manifesto ye ku Lwokutaano enkya mu kibuga Mbarara.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts