Omugagga nnannyini Tuweereza Beekeri e Nateete alese obugagga obuwuniikiriza. Abadde n'abaana abagambibwa okuba mu 100, ennyumba ssatu omuli bakyala be ezitemya ng'omuntu, amayumba amalala ne ffaamu.
Yalaama obutamuziika mu ssanduuke, bamuzinge mu mbugo 100. Entaana ereme kussibwako seminti. Angello Kasirye Tuweereza yasinga kumanyika olw'okufumba n'okutunda emigaati ng'asinziira e Nateete we yava okugaziya akatale n'atandika okutunda emigaati gya Tuweereza mu Ankole.
Yafiiridde mu ddwaaliro lya Norvik Hospital ku Bombo Road ku Ssande. Amaka ge amakulu gali ku lusozi e Kireka- Bbira mu Wakiso awakumiddwa olumbe. Wano we wazimbiddwa weema omwatuuziddwa abaana be. Muganda we yategeezezza nti abadde amulaga bw'alina abaana abangi era bano baatudde mu weema yaabwe ne bagijjuza.
Kkampuni ya Tuweereza erina amatabi e Nateete ku ttaano, e Masaka ne Mbarara. Ye nnannyini beekeri endala eya Daily Loaf e Kampalamukadde. Ye nnannyini ffaamu ya Bijja Bigereke e Kireka -Bbira, n'endala eri Jjeza ku lw'e Mityana, ssaako e Masindi. Ye nnannyini kkampuni ekola n'okutunda engano ya Bull Brand & Wheat Flour, ekyuma kya kasooli ekya Tuweereza Flour Mill, alina amayumba e Makindye, alina ettaka n'amayumba e Nateete.
Ye nnanyini ttaka okuli ppaaka y'e Nateeta awasimba ttakisi z'e Nakawuka. Mmwanyina, Miriam Nagitta yagambye nti yatandika okulwala omwaka oguwedde. Abadde atawaanyizibwa obulwadde bw'ensigo. Omwaka oguwedde yatwalibwa e Buyindi okujjanjabwa kyokka okuva olwo tatereeranga.
Mutabani we, Rogers Sekajja agamba: taata yatandika okunafuwa omwaka oguwedde. Yasooka kulwala alusa (ulcers), omugongo ne puleesa. Abasawo baazuula luvannyuma ng'ensigo nazo ndwadde. Bwe yagenda mu ddwaaliro okumukebera ne bakizuula ng'ensigo ndwadde. E Buyindi baamugamba okumukyusa ensigo kyokka n'agaana nti ku myaka gye tagenda kusalibwa kuteekebwamu nsigo ndala.
Yakomawo n'atandika okujjanjabirwa mu Norvik Hospital. Enteekateeka z'okuziika Leero ku Lwokuna, omulambo gutuusibwa mu maka ge e Bbira- Kireka. Enkya ku Lwokutaano gutwalibwe ku biggya e Nakikungube- Masuliita gy'anaaziikibwa ku Lwomukaaga ku ssaawa 6:00 ez'emisana. Waakuziikibwa mu mbugo 100.
Godfrey Kibirige Mutabalira Ssekiti, owessiga lya Bakazirwendo mu Kika ky'Engeye yategeezezza nti Kasirye yalaama okumuzinga mu mbugo 100, tebamuteeka mu ssanduuko ate entaana ye tebagizimbako seminti. Okuggyako bayinza okukozesa seminti okugimaliriza ku ngulu. Omutaka yagambye nti olunaamala okusima entaana tebajja kubaako kye bagikolako.
Bajja kuziika oluvannyuma bayooyoote ku ngulu nga bwe yalaama. Ssekajja agamba nti taata waabwe yabaagala nnyo ng'abaana n'afuba okubasomesa baleme kubeera nga ye ataasoma. Abadde akuutira abaana okusoma nga yejjusa ye obutasoma kubanga kimufiirizza ebintu bingi. Ng'akyogera lunye nti tulina okusoma kubanga ye teyasoma alaba alina bingi bye yafiirwa olw'obutasoma.
Agattako: yatuyigiriza okukola, abaana be ffenna okuva obuto nga mu luwummula tubeera mu beekeri nga tukola n'abakozi be. Bwe nnamala okusoma n'ampa okuddukanya ekyuma ekikola engano e Nateete ekya Tuweereza Wheat Four Mill kuba emirimu nnali ngikuliddemu. Yayagala nnyo okuleka omukululo. Abadde akitugamba lunye nti mbazadde abaana bangi mu bamaama ab'enjawulo. Njagala mukwatagane. Njagala bizinensi yange ebeere nga ey'Abayindi, ne bwendiba nvuddewo esigale nga ya maanyi, egende mu maaso.
Abadde ayagala nnyo ebisolo nga mulunzi. Ebikwata ku Kasirye Tuweereza Azaalibwa abagenzi Cosma Kasirye ne Margaret Nakiyimba Zalwango ab'e Maya mu Mpigi. Yasoma kitono era abadde yeewaako ekyokulabirako nti afiiriddwa bingi olw'obutasoma. Wadde mugagga abadde akiddingaana nti ssinga yasoma yandisinzeewo nnyo.
Kitaawe yali mulimi n'okuyiisa omwenge. Tuweereza naye yaguyiisa nnyo. Yava e Maya n'ajja e Kampala ng'azze kufumba walagi. Yasibira Nateete ku ttaano kati awali ekyuma kye eky'engano, n'atandika okufumba walagi. Olumu abantu abettima baayiwa omunnyo n'enkejje mu walagi n'ayonooneka. Ssente za kapito zonna zaafa n'adda ku zero.
Eyayonoona waragi we yamuggulira ekkubo ly'obugagga. Yali akomye, waliwo mwanyina Omusiraamu eyamutwala mu beekeri emu e Kabojja, eno baali baagalayo Basiraamu bokka bwatyo Tuweereza ne bamubatiza erinnya lya Abdu Kasirye n'agenda atandika okukola mu beekeri, eyo gye yayigira okufumba amandaazi , keeki n'emigaagti.
Ng'omuvubuka omujagujagu, bwe yafunayo ku ssente, yavaayo n'agenda e Nateete n'atandika okukola ebibye, kwe kutandika beekeri ya Tuweereza mu 1974. Yatandika okuyitimuka ennyo mu 1990 okuva olwo teyadda mabega, n'atandika okukola n'amatabi amalala n'ayongera okugaziya, n'akola ne bizinensi endala omuli ffaamu z'ente.
Abaana Kasirye alese bamulekwa bangi ddala, Nagitta agamba nti tebamanyi muwendo gw'abaana ba mwanyinaabwe mutuufu wabula kye bamanyi nti bangi era n'omuwendo gwa bakyala be omutuufu nagwo tegumanyiddwa. Abakyala abatongole abamanyiddwa bali basatu okuli; Edith Nansamba ow'empeta abeera mu maka ge e Kireka- Bbira, Madiinah Kasirye abeera e Lubaga ne mukyala mukulu Gorret Kasirye abeera e Seguku.
Gorret Kasirye, nnamwandu omukulu agambye nti, omusajja tabalirwa nzaalo, bbaffe alina abaana bangi ddala batandise okubaleeta, waliwo ne be baaleese be mbadde simanyi ate mbu bakyaleeta, abakazi abatongole mbadde mmanyi tuli basatu, essaawa eno waliwo owookuna ayingiddewo, kati omuwendo omutuufu kikyali kizibu okugumanya.
Azimbye amasinzizo: Kasirye abadde musajja mukkiriza nga Mukatoliki , mwannyina Hasifah Nalunga agambye nti alese azimbye Klezia bbiri okuli; ey'e Maya - Busende n'ey'e Lusundo ku luguudo lw'e Mityana ssaako okwetaba mu kuzimba Klezia ez'enjawulo era ye yagula entebe eziri mu ba kateeyamba e Nalukolongo.
Kasirye embeera ze zibadde za njawulo, nga bangi balowooza musajja mukambwe nnyo era ddala abadde mukambwe, wabula abamumanyi bagamba nti ku mutima abadde musajja wa kisa nnyo ayagaliza buli omu ate nga mugabi. Omu ku bakozi ba Kasirye ataayagadde kumwatuukiriza mannya agamba nti, Kasirye abadde ne ssente nga naye yeennyini tazimanyi muwendo, olumu yategeeza nti yakoma okumanya ssente zaalina ku akawunti mu 1999.
Abadde akwata ebisawo bya ssente nagabira abantu ekyalowooozesa abamu nti zirimu ebyawongo, abadde teyeegulumiza nga wadde mugagga fugge oyinza okumusanga ng'agula essaati eya 5,000/- nga gyayambala ate olumu ng'atambuza bigere ebyereere omutali ngatto. Wadde abadde mugagga ffugge, naye yali yagaana okulinnya ennyonyi, omu ku bakozi be agamba nti, mu 2018 bbanka ya Barclays yamusiima okuba ng'asinze okutereka mu bbanka yaabwe n'emuwa ekirabo kya lugendo lw'ebweru awummuleko n'okulambula e Dubai, wabula ekirabo kino yakigaana n'ategeeza nti ye talinnya nnyonyi era ennyonyi bagimulinnyisizzaamu nga mulwadde nga bamutwala Buyindi kumujjanjaba.
Buli Ssekukkulu abadde agabira abantu b'e Nateete emigaati, ente ne ssente enkalu, nga buli gy'alina amaka akola bwatyo. Muhamood Kasiriivu omwogezi w'ekika ky'Envuma; Kasirye abadde mpagi luwaga mu kika ng'awagira buli mirimu gya kika.
Ba kazi be Gorret Kasirye nnamwandu omukulu aliwo; naakamala ne Kasirye emyaka 36 era mukama atuwadde ezzadde eriwera, Kasirye abadde mwami mukozi nnyo azuukuka ssaawa 11:00 buli lunaku n'agenda okukola, talina lunaku lwawummula, kebeere Ssande oba Ssekukkulu ye abadde alina okukola nga tawummula. Abadde ayagala nnyo abantu, atulabiridde bulungi bakyala be ffenna, abadde ayagala nnyo amazima.
Madiinah Kasirye ow'e Lubaga; mmaze ne Kasirye emyaka 16, abadde mwami mulungi, alina omukwano eri abaana be ne bakyala be.