WASHINGTON, Amerika ABAMERIKA bategese bwe banaagoba Donald Trump mu ntebe singa anaaba agyeremezzaamu, agololwe ettumba.
Trump yaweze obutava mu ntebe ekyamenyewo akalombolombo akakulu mu demokulasiya wa Amerika ke babadde beenyumiririzaamu nti be basinga amawanga amalala olw'abeesimbyewo ku Bwapulezidenti ne bagwa ne bakulisa ababawangudde Trump kye yagaanye.
Trump agenze mu byafaayo ebyasooka okukolebwa eyali Pulezidenti wa Amerika, John Adams mu kulonda kwa 1800 bwe yawangulwa Thomas Jefferson. Kw'olwo abakuumi ba Pulezidenti wa Amerika aba Secret Service be baamuggyamu nga n'abakozi b'amaka ga Pulezidenti wa Amerika aga White House bagavuddemu ne bamulekamu ne ffamire ye.
Abamerika bategese kukozesa Ssemateeka waabwe eyatandika okuwandiikibwa nga September 17, 1787 kati amaze emyaka 233 era nga ye Ssemateeka omuwandiike asinga obukadde mu nsi, baggye Trump mu ntebe.
Ku kya Ssemateeka obutayogera ku biddirira singa Pulezidenti yeeremeza mu buyinza, Abamerika bagenda kukozesa akawaayiro akaamwongerwamu mu 1792. Kalagira Pulezidenti omulonde okulayira n'atuula mu ntebe nga January 20, ku ssaawa mukaaga ekitegeeza nti eggye lya Secret Service lyandyeyambisibwa okuggya Trump mu maka g'Obwapulezidenti ng'ennaku ezo tezinnatuuka.
Ng'olunaku lwa January 20, 2021 lusembera, ebitongole by'ebyokwerinda omuli ekiketta ebweru wa Amerika ekya CIA, ekiketta munda mu Amerika, Bakoze pulaani okugolola Trump ettumba.
Joseph Robinette Biden Jr y'ani?. PULEZIDENTI wa Amerika owa 46, by'azze akola okutuuka lw'alondeddwa ku kifo ekisinga obunene mu nsi ne likodi ze yamenye; Yazaalibwa November 20, 1942 alina emyaka 78 era ye Pulezidenti wa Amerika asinze okulondebwa nga mukulu.
Bwe yali omumyuka wa Barack Obama okuva 2009 okutuuka 2017, yafuuka omumyuka wa Pulezidenti wa Amerika owa 47. Amenye likodi ya Obama abadde akyasinze okufuna obululu obungi mu baali bawangudde akalulu ka Pulezidenti wa Amerika. Obama mu 2008 yafuna obululu 69,498,516 kyokka Biden 74,446,452 by'ebitundu 50.5 ku 100 obwatabudde Donald Trump eyagaanyi ebyavudde mu kulonda.
Okumulonda kwe kukyasinze okujjumbirwa okuva ku kwaliwo mu 1900. Yali mubaka wa Palamenti ow'essaza ly'e Delaware okuva 1973 okutuuka 2009. Azaalibwa ku kyalo Scranton mu ssaza ly'e Pennsylvania eryamuwadde obuwanguzi n'abalonzi (electors 20) era bwe yaliwangudde ne yeetikka Donald Trump.
Olw'obwavu nga tebalina mirimu mu kitundu ekyo, bazadde be nga bombi baafa, baasengukira Delaware, Biden naye gye yazimba amaka. Yasomera mu University of Delaware gye yava okugenda Syracuse University mu 1968 gye yatikkirwa diguli y'amateeka.
Yasooka kulondebwa ku kifo kya kansala wa ggombolola ya New Castle e Delaware mu 1970. Mu 1970 okutuuka 1972 nga tannaweza myaka 30, yalondebwa ku bukiise bwa New Castle County Council Member n'abeera omu ku bakiise omukaaga abaali basinga obuto mu kadde ako mu lukiiko.
Yaliko ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z'ebweru aka Foreign Relations Committee oluvannyuma n'afuuka ssentebe waako. Yawakanya Amerika okulwana olutalo lwa Gulf War mu 1991 olwasooka okukuba Saddam Hussein owa Iraq, kyokka mu 2002, ate yawagira ekiteeso ky'okukuba Saddam Hussein ave mu buyinza.
Yakulirako akakiiko k'ebyamateeka mu Palamenti aka Judiciary Committee okuva mu 1987 okutuuka 1995. Y'omu ku baakulembera okulwanirira okumalawo obusosoze mu bakyala, okumalawo ettemu mu Amerika mu tteeka eryaleetebwa ne lituumibwa Violent Crime Control and Law Enforcement Act and the Violence Against Women Act.
Yavuganyako n'atayitamu okuweebwa kkaadi ya DP yeesimbewo ku Bwapulezidenti wa Amerika emirundi ebiri; ogwa 1988 ne 2008. ekya FBI n'ekitebe ky'eggye lya Amerika ekya Pentagon bikendeeza ebyama bye bitegeeza Pulezidenti aliko (Trump) ne bongera okubitegeeza omuggya (Joe Biden) era ne ku luno bwe kigenda okubeera.
Obukuumi obuweebwa Pulezidenti ava mu buyinza nga bw'olaba Trump nabwo bukendeezebwa ng'obukuumi bw'omupya (Biden) bwongerwamu amaanyi era kino kyakoleddwa dda ku maka ge mu ssaza ly'e Delaware awatakyakkirizibwa nnyonyi yonna kubuukira kumpi.
Abakozi b'amaka ga White House abawera 377 omuli abafumba emmere, abaaniriza abagenyi, abakola guno na guli basiba engugu ne baabulira amaka ago kisobozese Pulezidenti omupya okuleeta be yeerondedde nga bwe kiri mu tteeka lya 1978. Kino kitegeeza nti Trump aba takyalina bayambi abeera asigadde mu maka n'aba ffamire ye bokka.
Bwe lunaatuuka n'agaaniramu, eggye lya Secret Service lya kumukwata mu ngeri gye linaasalawo azzibwe ku butaka ku kizinga kya Queens Island mu kibuga New York gy'azaalibwa era gy'alina n'amaka. Ku ssaawa mukaaga era, ebitongole by'ebyokwerinda okuli Pentagon, CIA, FBI n'ekyassaabawolereza wa Gavumenti bya kusalako Trump ebyempuliziganya bisigale kwogera na Biden.
Mu Amerika, ebitongole bikola emirimu gyabyo nga tebiwuliriza mateeka ga Pulezidenti. Ebyo by'ebimu ku byakolebwa okuggya John Adams mu ntebe n'anyiiga n'agaana n'okugenda ku mukolo gw'okulayiza Thomas Jefferson.
Source