Tuesday, November 24, 2020

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe.

Ekkanisa eno eya Kagobe Adventist Church esangibwa ku kyalo Kasegga mu ggombolola y'e Kapeke mu disitulikiti y'e Kiboga. Yamenyeddwa ku Lwomukaaga
ekiro.

Eziazaali Bukenya omu ku bakadde b'ekkanisa eyo yategeezezza nti ettaka kw'eri lyali lya Kambugu eyaliguza omubaka wa Kyankwanzi Ndawula Kaweesi.

Kaweesi ng'amaze okugula ettaka lino yabategeeza nga bw'atayagala kkanisa ku ttaka lye era yabagamba nti agenda kubagulira ettaka eddala w'anaabateeka ne bakola endagaano.

Bukenya yayongeddeko nti yatandika okunoonya ekifo kya yiika nga ssatu okumpi awo ne kibula ne baddamu ne bakola endagaano nti abawaddeko yiika ssatu nga babadde bateekateeka kugigaziya we baagimenyedde.

Ndawula Kaweesi yategeezezza ku ssimu nti talina ky'amanyi ku kumenyebwa kw'ekkanisa eno kuba yabawa yiika ssatu awo w'eri era bwe wabaawo eyagimenye yakikoze mu bukyamu.

Omuduumizi wa poliisi y'e Kiboga, Godffery Ninsiima yategeezezza nti banoonyereza
okuzuula abaagimenye.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts