Tuesday, November 24, 2020

Bobi Wine agudde mu lukwe lw'okumutemula

Bobi Wine agudde mu lukwe lw'okumutemula


BOBI Wine asinzidde Bundibugyo n'ategeeza nti agudde mu lukwe okumutta, emu ku mmotoka ezitambulirako abaserikale bataddemu Sobi amukoleko obulabe.

"Akamotoka kemulaba awo kalimu Sobi ayagala kunzita naye bakimanye nti Katonda yaabasinga amaanyi" Bobi bw'alabudde.

Sobi njagala okimanye nti nawe bakukozesa bukozesa okukola ebikyamu, nawe olina ‘batoto' (ategeeza olina abaana) olina abantu boolabirira lwaki oyagala okunzita.

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n'agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati olukung'aana alukubye bbali bbali waavudde okweyongerayo e Bunyangabu.

Bamukwasizza effumu n'engabo era abategeezezza nti oluva e Bunyangabu yeeyongerayo Kasese gy'afundikirira olwaleero.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts