Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne babakuba mizibu, nga kati bapooca na bisago.
Abeesimbyewo babiri okuli; Sharif Ssewannyana eyeesimbyewo ku bwa kansala bwa LC III ku kaadi ya DP mu muluka gwa Najjanankumbi II, ne Abdallah Ali Sseviiri atalina kibiina eyeesimbyewo ku kifo kya kansala LC III okukiikirira ekitundu kya Kabowa II omuli ebyalo; Kironde ne Simbwa ebisangibwa mu muluka gw'e Kabowa mu munisipaali y'e Lubaga be baatuusiddwaako ebisago eby'amaanyi.
Bano baalumbiddwa mu bitundu eby'enjawulo ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi nga kati bapooceza mu malwaliro, wabula nga bombi abaabalumbye, baabadde babalabula kuva mu lwokaano lwa byabufuzi.
Abdallah Ali Seviiri omutuuze mu Kironde e Kabowa agamba, baamusanze agenda mu kibuga gy'akolera ku ssaawa 12:00 ez'oku makya, ne bamukiika emmotoka ekika kya Noa enzirugavu nga beesibye obukookolo mu maaso, ne bamukwata ku mpaka ne bamuyingiza mu mmotoka ne bamuvuga okutuuka ku Kalittunsi mu Kisenyi gye baasanze bannaabwe abalala ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa ne badduka. Abazirakisa be bamuddusizza mu kalwaliro oluvannyuma n'ayongerwayo mu ddwalairo eddene e Nsamba gyali mu kujjanjabirwa kati.
Ye Sharif Sewanyana ow'e Najjanankumbi agamba, abaamutuusaako obulabe baayita mu bakazi babiri abeefuula abalonzi be ne bamusaba abatwaleko, kyokka bwe yabatuusizza we baamugambye yasanzeewo abavubuka abaali ku pikipiki ne bazimukiika ne bamukuba mizibu nga bwe bamulabula okuva mu lwokaano oba ssi kyo waakulaba ekinaddako, yataasibwa pikipiki ezaali ziyita mu kkubo eryo.
Baamubbyeko essimu ne ssente obukadde busatu 3 ze yabadde nazo. Yagguddewo omusango ku fayiro SD; 76/23/11/2020 ku poliisi e Katwe, ono era baagenda maaso n'okutimbulula ssaako okusalaala ebipande bye ebisinga obungi.
Bano bagamba bali mu kutya kuba tebamanyi b'ani bali mabega w'ebikolwa bino ne basaba akakiiko k'ebyokulonda ne poliisi okwongera okunyweza obukuumi mu bitundu byabwe.
Thursday, November 26, 2020
Bawambye abeesimbyewo e Lubaga ne babakuba mizibu
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...