Thursday, November 19, 2020

Besigye alumbye poliisi okukozesa eryanyi ku bavuganya

Besigye alumbye poliisi okukozesa eryanyi ku bavuganya

DR. Kiiza Besigye yeegasse ku bamu ku beesimbye bwapulezidenti ne bavumirira poliisi okukwata Robert Kyagulanyi, ne basemba kampeyini ziyimirizibwe, abeesimbyewo abali ku ludda oluvuganya bakkaanye ku kiddako Embeera bwe yasajjuse, Mugisha Muntu owa ANT ye yasoose okuteeka obubaka ku mukutu gwe ogwa twitter n'ategeeza nti enneeyisa y'ebitongole by'ebyokwerinda ng'egenda mu maaso n'okutulugunya Bobi Wine ezza eggwanga emabega ng'eriteeka ku kalebwerebwe k'okudda mu busambattuko.

"Twegatta ku NUP ne Bannayuganda bonna abalina endowooza ey'obwenkanya okukubiriza gavumenti okuyimbula Bobi Wine mu bwangu" bwe yagumizza. Mugisha yagambye nti baayimirizza kampeyini zaabwe okutuusa nga Bobi Wine ne Amuriat bayimbuddwa. Wabula we twagendedde mu kyapa nga bombi tebannayimbulwa.

Lt. Gen. Henry Tumukunde Kakurugu, mu bubaka bwe yafulumizza yategeezezza nti tuli ku ndeboolebo z'okukyusa ebyafaayo by'eggwanga naye enneeyisa y'abalina obuyinza erabika ewakanya embeera eriwo. Twegatta ku bannaffe abalala bonna okubanja bayimbule Kyagulanyi.

Tumukunde yasinzidde Budibugyo gye yabadde alina okukuba kampeyini kyokka Poliisi naye yamusuulidde emisanvu n'alemesebwa okutuuka mu bawagizi be n'akukkuluma nti kampeyini Poliisi n'amagye bazimulemesezza John Katumba yatadde obubaka ku twitter n'ategeeza nti ali wala n'ekibuga naye ebifaananyi bye ndaba bimenya omutima.

Poliisi bw'ebeera nga ky'eyogera ky'etegeeza twetaaga okuggyawo abantu bano. "Nze nnyinza ntya okukakasa nti ndi bulungi nga poliisi enkuuma y'ekutte munnange bwe tuvuganya," bwe yabuuzizza.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts