Wednesday, November 18, 2020

Kyagulanyi avunaanwa okukola kampeyini eziyinza okusaasaanya covid 19

Kyagulanyi avunaanwa okukola kampeyini eziyinza okusaasaanya covid 19

Robert Kyagulanyi eyeesimbyewo ku bwapulezidenti mu kibiina kya NUP avunaaniddwa okukola ebikolwa ebiyinza okuvaako okusaasaanya obulwadde bwa covid 19.

Kyagulanyi akwatiddwa olwaleero bw'abadde agezaako okukuba kampeyini poliisi z'egamba mbu tezaabadde mu mateeka .

Tekimanyiddwa oba nga poliisi etegeka okutwala Kyagulanyi mu kkooti naye ng' atwaliddwa mu kkomera e Nalufenya gy'asibiddwa.

Emisango egimuvunaanibwa giri mu kiwandiiko ekiraga nga Robert Kyagulanyi ow'emyaka 38 eyeesimbyewo ku bwapulezidenti, omutuuze w'e Magere Village, mu kibuga Kasangati mu disitulikiti y'e, Wakiso nga November 18, ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya bwe yabadde mu kibuga ky'e Luuka yakubye kampeyini ezisussa abantu 200 ng'akimanyi bulungi nti ziyinza okuvaako okusaasaanya obulwadde bwa covid 19.  Ekiraga nti anyoomodde ebiragiro eby'akakiiko ky'ebyokulonda ne minisutule y'ebyobulamu

Naye waliwo ensonda ezigamba nti e Nalufenya, Kyagulanyi aggyiddwaayo ekiro n'aleetebwa e Kampala.

Ku Lwokubiri omubaka wa palamenti owa, Makindye West Allan Ssewanyana naye yasimbibwa mu kkooti y'e  Makindye n'avunaanibwa emisango gye gimu era ono akuumibwa  mu kkomera e Kitalya ..






Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts